Chapter 41
1 Musirike mu maaso gange, mmwe ebizinga, amawanga gaddemu obuggya amaanyi gaabwe: basembere; balyoke boogere: tusembere wamu eri omusango.
2 Ani ayimusizza omuntu ava ebuvanjuba, gw'ayita mu butuukirivu okujja ku kigere kye? agaba amawanga mu maaso ge, era amufuza bakabaka; abawa ekitala kye ng'enfuufu, ng'ebisasiro ebikuŋŋunsibwa eri omutego gwe.
3 Abagoba n'ayitawo mirembe; ayita mu kkubo ly'atayitangamu n'ebigere bye.
4 Ani eyakireeta eyakikola, ng'ayita emirembe okuva ku lubereberye? Nze Mukama ow'olubereberye era ow'enkonerero, nze wuuyo.
5 Ebizinga byalaba ne bitya; enkomerero z'ensi zaakankana: baasembera ne bajja.
6 Baayamba buli muntu muliraanwa we; buli muntu n'agamba muganda we nti Guma omwoyo.
7 Awo omubazzi n'agumya omwoyo omuweesi wa zaabu, n'oyo asennyenta n'ennyondo n'agumya oyo akuba ku luyijja, ng'ayogera ku kyuma ekigatta nti Kirungi: n'akikomerera n'enninga kireme okusagaasagana.
8 Naye ggwe, Isiraeri, omuddu wange, Yakobo gwe nnalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange;
9 gwe nnakwatako okuva ku nkomerero z'ensi ne nkuyita okukuggya mu nsonda zaayo, ne nkugamba nti Ggwe muddu wange, nakulonda so sikusuulanga;
10 totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo: naakuwanga amaanyi; weewaawo, naakuyambanga; weewaawo, naakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange.
11 Laba, abo bonna abakusunguwalidde balikwatibwa ensonyi baliswazibwa: abo abawakana naawe baliba nga si kintu, era balibula.
12 Olibanoonya so tolibalaba abo abakuziyiza: abo abalwana naawe baliba nga si kintu era ng'ekirerya.
13 Kubanga nze Mukama Katonda wo naakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze naakuyambanga.
14 Totya, ggwe olusiriŋŋanyi Yakobo, nammwe abasajja ba Isiraeri; nze naakuyambanga, bw'ayogera Mukama, era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo.
15 Laba, ndikufuula ekintu ekiwuula ekiggya eky'obwogi ekirina amannyo: ggwe oliwuula ensozi, n'oziseera ddala, n'ofuula obusozi okuba ng'ebisusunku.
16 Oliziwujja, empewo n'ezifuumuula, embuyaga ez'akazimu ne zizisaasaanya: naawe olisanyukira Mukama, olyenyumiririza Omutukuvu wa Isiraeri.
17 Abaavu n'abatalina kintu banoonya amazzi so nga tewali, olulimi lwabwe ne lulakasira; nze Mukama ndibaddamu, nze Katonda wa Isiraeri siribaleka.
18 Ndizibikula emigga ku nsozi ez'obweru n'ensulo wakati mu biwonvu: ndifuula olukoola ekidiba ky'amazzi, n'ettaka ekkalu okuba enzizi z'amazzi.
19 Ndisimba mu lukoola omuvule n'omusita n'omumwanyi n'omuzeyituuni; nditeeka mu ddungu enfugo n'omuyovu ne namukago wamu:
20 balabe, bamanye, balowooze, bategeere wamu ng'omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, era nga Omutukuvu wa Isiraeri ye akitonze.
21 Muleete ensonga yammwe, bw'ayogera Mukama; mwolese ensonga zammwe ez'amaanyi, bw'ayogera Kabaka wa Yakobo.
22 Bazireete, batubuulire ebigenda okubaawo: mubuulire ebyasooka okubaawo bwe biri, tubirowooze tutegeere enkomerero yaabyo ey'oluvannyuma; oba mutulage ebigenda okujja.
23 Mubuulire ebigambo ebijja okubaawo oluvannyuma, tulyoke tutegeere nga muli bakatonda: weewaawo, mukole obulungi oba mukole obubi tukeŋŋentererwe tukirabire wamu.
24 Laba, temuliiko gye muva, so n'omulimu gwammwe teguliiko gye guva: oyo abalonda wa muzizo.
25 Nnyimusizza omuntu ava obukiika obwa kkono, era atuuse; okuva ebuvanjuba omuntu ayita erinnya lyange: era alijja ku bafuga nga ku ttaka, era ng'omubumbi bw'asamba ebbumba.
26 Ani eyakibuulira okuva ku lubereberye tulyoke tumanye? era mu biro eby'edda tulyoke twogere nti Mutuukirivu? weewaawo, tewali abuulira, weewaawo, tewali alaga, weewaawo, tewali awulira ebigambo byammwe.
27 Ndisooka okugamba Sayuuni nti Balabe, balabe; era ndiwa Yerusaalemi omuntu aleeta ebigambo ebirungi.
28 Era bwe ntunula, tewali muntu; mu bo bennyini temuli ateesa ebigambo, ayinza okwanukula ekigambo bwe mbabuuza.
29 Laba, bo bonna emirimu gyabwe birerya so si kintu: ebifaananyi byabwe ebyole mpewo na kwetabula.