Chapter 25
1 Ai Mukama, ggwe Katonda wange; naakugulumizanga, naatenderezanga erinnya lyo; kubanga okoze eby'ekitalo, bye wateesa edda, mu bwesigwa n'amazima.
2 Kubanga ekibuga okifudde ekifunvu; ekibuga ekyaliko enkomera okifudde ebyagwa: eriyumba ery'abagenyi olifudde obutaba kibuga; tekirizimbibwa ennaku zonna.
3 Abantu ab'amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa, ekibuga eky'amawanga ag'entiisa kirikutya.
4 Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina bintu ng'alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa bwe kubanga kibuyaga akunta ku kisenge.
5 Ng'olubugumu oluli mu kifo ekikalu bw'olikkakkanya bw'otyo oluyoogaano olw'abagenyi; ng'olubugumu bwe lukkakkanyizibwa n'ekisiikirize ky'ekire, oluyimba olw'ab'entiisa lulikkakkanyizibwa.
6 Era ku lusozi luno Mukama ow'eggye alifumbira amawanga gonna embaga ey'ebya ssava, embaga ey'omwenge omuka, ey'ebya ssava ebijjudde obusomyo, ey'omwenge omuka ogusengejjeddwa obulungi.
7 Era alimirira ddala ku lusozi luno ekibikka kyonna ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n'eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna
8 Yamirira ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n'ekivume eky'abaatu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde.
9 Kale kiryogererwa ku lunaku luli nti Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola: ono ye Mukama, twamulindiriranga, tulisanyuka tulijaguliza obulokozi bwe.
10 Kubanga ku lusozi luno omukono gwa Mukama kwe guliwummulira, era Mowaabu alirinnyiririrwa mu kifo kye, ng'ebisasiro bwe birinnyiririrwa mu mazzi ag'olubungo.
11 Era alyanjuluza engalo ze wakati mu kyo, ng'awuga bw'ayanjuluza engalo ze okuwuga: era alikkakkanya amalala ge wamu n'enkwe ez'engalo ze.
12 N'ekigo eky'olukomera oluwanvu olwa bbugwe wo akikkakkanyizza, akissizza wansi, n'akituusa ku ttaka okutuuka ne mu nfuufu.