Chapter 34

1 Musembere, mmwe amawanga, okuwulira; era muwulirize, mmwe abantu: ensi ewulire n'okujjula kwayo; ettaka n'ebintu byonna ebirivaamu.
2 Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna, n'ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna: abazikiririzza ddala, abagabudde okuttibwa.
3 Era abaabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, n'ekivundu eky'emirambo gyabwe kiririnnya, n'ensozi zirisaanuuka olw'omusaayi gwabwe.
4 N'eggye lyonna ery'omu ggulu liryabulukuka, n'eggulu lirizingibwa ng'omuzingo gw'empapula: n'eggye lyalyo lyonna liriyongobera, ng'akalagala bwe kayongobera ne kava ku muzabbibu, era ng'akalagala akayongobera bwe kava ku mutiini.
5 Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu: laba, kirigwa ku Edomu, ne ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango.
6 Ekitala kya Mukama kijjudde omusaayi, kisavuwadde n'amasavu, n'omusaayi gw'abaana b'endiga n'embuzi, n'amasavu ag'ensigo z'endiga ennume: kubanga Mukama alina ssaddaaka e Bozula, n'okutta abangi mu nsi ya Edomu.
7 N'embogo ziriserengeta wamu nazo, n'ente wamu ne ziseddume; n'ensi yaabwe eritamiira omusaayi, n'enfuufu yaabwe erisavuwala n'amasavu.
8 Kubanga lwe lunaku olw'okuwalana eggwanga lya Mukama, omwaka ogw'okusasula empeera mu mpaka za Sayuuni.
9 N'emigga gyayo girifuuka bulimbo, n'enfuufu yaayo kibiriiti, n'ensi erifuuka bulimbo obwaka.
10 Terizikizibwa misana newakubadde ekiro; omukka gwayo gunaanyookanga ennaku zonna: emirembe n'emirembe eneebeereranga awo ng'ezise; tewaabenga anaagiyitangamu emirembe n'emirembe.
11 Naye kimbala ne namunnungu be banaabanga bannyini yo; n'ekiwugulu ne namuŋŋoona be banaatuulanga omwo: era aligireegako omugwa ogw'okwetabula, n'amayinja agatereeza ag'obutaliimu.
12 Baliyita abakungu baayo okujja mu bwakabaka, naye tewaliba alibaayo; n'abalangira baayo bonna baliba si kintu.
13 N'amaggwa galimera mu mayumba gaayo, emyennyango n'amatovu mu bigo byayo: era eneebanga nnyumba za bibe, luggya lwa bamaaya.
14 N'ensolo enkambwe ez'omu ddungu zirisisinkana n'emisege, n'eya zigeye eriyitiriza ginnaayo; weewaawo, ennyonyi ey'ekiro erigwa eyo, ne yeerabira ekiwummulo.
15 Eyo ekkufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo, ne libiika, ne limaamira, ne likuŋŋaanya wansi w'ekisiikirize kyalyo: weewaawo, eyo bakamunye gye balikuŋŋaanira, buli omu wamu ne munne.
16 Munoonye mu kitabo kya Mukama musome: tekulibula ku ebyo na kimu, tewaliba ekiribulwa kinnaakyo: kubanga akamwa kange ke kalagidde, n'omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza.
17 Era abikubidde obululu, n'omukono gwe gubigabidde n'omugwa: binaagiryanga ennaku zonna, emirembe n'emirembe binaatuulanga omwo.