Chapter 44
1 Naye kaakano wulira, ggwe Yakobo omuweereza wange: ne Isiraeri gwe nnalonda:
2 bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakukola naakubumba okuva mu lubuto, naakuyambanga, nti Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; naawe Yesuluni gwe nnalonda.
3 Kubanga ndifuka amazzi ku oyo alumiddwa ennyonta n'emigga ku ttaka ekkalu: ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo n'omukisa gwange ku nda yo:
4 era baliroka mu muddo ng'enzingu ku mabbali g'emigga.
5 Walibaawo aligamba nti Nze wa Mukama; n'omulala alyetuuma eriinya lya Yakobo; n'omulala aliwandiika n'omukono gwe nga wa Mukama, ne yeetuuma erinnya lya Isiraeri.
6 Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Kabaka wa Isiraeri, era omununuzi we Mukama ow'eggye nti Nze ndi wa lubereberye era nze ndi wa komerero; so tewali Katonda wabula nze.
7 Era ani, nga nze, aliyita n'akibuulira n'akinteekerateeera, kasookedde nzizaawo eggwanga ery'edda? n'ebyo ebijja okujja n’ebyo ebiribaawo babibuulire.
8 Temutya so temutekemuka: obw'edda saakubuulira ne nkiraga? nammwe muli bajulirwa bange. Waliwo Katonda wabula nze? weewaawo, tewali Lwazi; nze siriiko lwe nmanyi.
9 Abo abakola ekifaananyi ekyole bonna birerya; n'ebintu byabwe eby'okwesiima tebiriiko kye birigasa: n'abajulirwa baabwe bo tebalaba so tebamanyi; balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 Ani eyakola katonda oba eyasaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kigasa?
11 Laba, banne bonna balikwatibwa ensonyi; n'abakozi ba mu bantu: bonna bakuŋŋaanyizibwe wamu, bayimirire; balitya balikwatirwa wamu ensonyi.
12 Omuweesi ng'aweesa embazzi n'ayisa mu manda n'agisennyenta n'ennyondo n'agisaaza n'omukono gwe ogw'amaanyi: weewaawo, ng'alumwa enjala amaanyi ge ne gaggwaawo; nga tanywa ku mazzi n'ayongobera.
13 Omubazzi ng'aleega omugwa; ng'akiramba n'ekkalaamu; ng'akisaanya n'eranda n'akiramba kyonna n'ekyuma ekigera, n'akifaananya ekifaananyi ky'omuntu, ng'obulungi bw'omuntu bwe buli, okutuulanga mu nnyumba.
14 Nga yeetemera emivule n'atwala enzo n'omuyovu, era yeenywerezaako ogumu ku miti egy'omu kibira: ng'asimba enkanaga enkuba n'egimeza.
15 Awo eriba ya nku eri omuntu; n'agitwalako n'ayota; weewaawo, ng'agikoleeza n'ayokya omugaati: weewaawo, ng'akola katonda n'akisinza; ng'akola ekifaananyi ekyole n'akivuunamira.
16 Ekitundu kyakyo ng'akyokya mu muliro; ku kitundu kyakyo kw'aggya okulya ennyama; ng'ayokya njokye n'akkuta: weewaawo, ng'ayota n'ayogera nti Owa, mbugumye, ndabye omuliro:
17 n'ekitundu kyakyo ekifisseeko ng'akifuula katonda, ekifaananyi kye ekyole: ng'akivuunamira n'asinza n'akyegayirira n'ayogera nti Mponya; kubanga ggwe katonda wange.
18 Tebamanyi so tebalowooza: kubanga azibye amaaso gaabwe n'okuyinza ne batayinza kulaba; n'emitima gyabwe n'okuyinza ne batayinza kutegeera.
19 So tewali ajjukira, so tewali kumanya newakubadde okutegeera n'okwogera n'ayogera nti Ekitundu kyakyo nkyokezza mu muliro, weewaawo, era nsiise omugaati ku manda gaakyo; njokezza ennyama ne ngirya: ate ekitundu kyakyo ekifisseeko n'akifuula eky'omuzizo? n'avuunamira ekisiki ky'omuti?
20 Alya evvu: omutima ogwalimbibwa gumukyamizza n'okuyinza n'atayinza kuwonya bulamu bwe newakubadde okwogera nti Eky'obulimba tekiri mu mukono gwange ogwa ddyo?
21 Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo; naawe Isiraeri, kubanga ggwe muweereza wange: nze nakubumba; ggwe muweereza wange: ggwe Isiraeri, sirikwerabira.
22 Nsangudde ebyonoono byo ng'ekire ekiziyivu, n'ebibi byo ng'ekire: komawo gye ndi; kubanga nakunnnula.
23 Yimba, ggwe eggulu, kubanga Mukama ye akikoze; mwogerere waggulu, mmwe enjuyi eza wansi ez'ensi; mubaguke okuyimba, mmwe ensozi, ggwe ekibira na buli muti ogulimu: kubanga Mukama yanunula Yakobo era alyegulumiriza mu Isiraeri.
24 Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, era eyakubumba okuva mu lubuto, nti Nze Mukama akola byonna; abamba eggulu nzekka; ayanjuluza ensi; ani ali awamu nange?
25 atta obubonero obw'abalimba era alalusa abalogo; akyusa abagezigezi okudda ennyuma ne nsiruwaza amagezi gaabwe:
26 anyweza ekigambo eky'omuweereza we ne ntuukiriza okuteesa kw'ababaka be; ayogera ku Yerusaalemi nti Kirituulwamu; ne ku bibuga bya Yuda nti Birizimbibwa, nange ndigolokosa ebifo byamu ebyazika:
27 agamba obuziba nti Kalira, nange ndikaliza emigga:
28 ayogera ku Kuulo nti Musumba wange era alituukiriza bye njagala byonna: n'okwogera ne njogera ku Yerusaalemi nti Kirizimbibwa; era agamba yeekaalu nti Omusingi gwo guliteekebwawo.