Chapter 6

1 Mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira nalaba Mukama ng'atudde ku ntebe, empanvu eyagulumizibwa, n'ekirenge kye nga kijjula yeekaalu.
2 Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu yalina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri yabibikka mu maaso ge, n'ebibiri yabibikka ku bigere bye, n'ebibiri yabibuusa.
3 Omu n'ayogerera waggulu eri munne ng'agamba nti Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama w'eggye: ensi yonna ejjudde ekiiibwa kye.
4 N'emisingi gy'emiryango ne ginyeenyezebwa olw'edoboozi ly'oyo eyayogerera waggulu, ennyumba n'ejjula omukka.
5 Ne ndyoka njogera nti Zinsanze! kubanga nfudde; kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu ab'emimwa egitali mirongoofu: kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow'eggye.
6 Omu ku basseraafi n'alyoka abuuka n'ajja gye ndi, ng'alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo:
7 n'alikomya ku kamwa kange, n'ayogera nti Laba, lino likomye ku mimwa gyo; era obutali butuukirivu bwo buggiddwawo, n'ekibi kyo kirongoosebbwa.
8 Ne mpulira eddoboozi lya Mukama, nga lyogera nti Naatuma ani, era anaatugendera ani? Ne ndyoka njogera nti Nze nzuuno: ntuma nze.
9 N'ayogera nti Genda obuulire abantu bano nti Okuwulira muwulire naye temutegeera; n'ozulaba mulabe, naye temwetegereza.
10 Savuwaza omutima gw'abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n'amaaso gaabwe, n'okuwulira n'amatu gaabwe, n'okutegeera n'omutima gwabwe, n'okukyuka, okuwonyezebwa.
11 Ne ndyoka njogera nti Mukama wange, birituusa wa okubaawo? N'addamu nti Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abituulamu, ne mu nnyumba nga temuli muntu ensi n'ezirikira ddala,
12 era Mukama ng’ajjuludde abantu ng'abatutte wala, n’ebifulukwa nga bingi wakati mu nsi.
13 Era ekitundu eky'ekkumi bwe kiriba nga kikyasigadde omwo, kiririirwa ddala nate: ng'omumyuliru era ng'omuvule ekikolo kyagyo nga kisigadde, bwe gitemebwawo; bwe kityo ensigo entukuvu kye kikolo kyayo.