Chapter 45

1 Bw'atyo Mukama bw'agamba oyo gwe yafukako amafuta, Kuulo, gwe nkutte ku mukono gwe ogwa ddyo, okujeemula amawanga mu maaso ge, era ndisumulula ebiwato bya bakabaka; okuggulawo enzigi mu maaso ge ne ziwankaaki teziriggalwawo;
2 ndikukulembera ne atereeza ebifo ebitali bisende: ndimenyaamenya enzigi ez'ebikomo ne ntemaatema ebisiba eby'ebyuma:
3 era ndikuwa obugagga obw'omu kizikiza n'ebintu ebyakwekebwa ebiri mu bifo eby'ekyama, olyoke omanye nga ndi Mukama akuyita erinnya lyo, Katonda wa Isiraeri
4 Ku lwa Yakobo omuweereza wange kyenvudde nkuyita erinnya lyo: nkutuumye erinnya newakubadde nga tommanyanga.
5 Nze Mukama so tewali mulala; tewali Katonda wabula nze: ndikusiba olukoba, newakubadde nga tommanyanga:
6 balyoke bamanye okuva ebuvanjuba n'okuva ebugwanjuba nga tewali wabula nze: nze Mukama so tewali mulala.
7 Nze mmumba omusana era ntonda ekizikiza; ndeeta emirembe era ntonda obubi; nze Mukama akola ebyo byonna.
8 Ggwe eggulu, tonnyesa okuva waggulu, n'ebbanga littulukuse obutuukirivu: ensi eyasame, baggyemu obulokozi, emeze obutuukirivu wamu; nze Mukama nagitonda.
9 Zisanze oyo awakana n'Omukozi we! olugyo mu ngyo ez'ensi! Ebbumba lirigamba oyo alibumba nti Okola ki? oba omulimu gwo guligamba nti Talina ngalo?
10 Zimusanze oyo agamba kitaawe nti Ozaala ki? oba omukazi nti Olumwa kuzaala ki?
11 Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Omutukuvu wa Isiraeri era Omukozi we, nti Mumbuuze ebigambo ebigenda okujja; ebya batabani bange, n'eby'omulimu gw'engalo zange mundagire.
12 Nakola ensi ne ntondera abantu mu yo: nze, engalo zange, nabamba eggulu, n'eggye lyalyo lyonna nze naliragira.
13 Mmugolokosezza mu butuukirivu, era ndigolola amakubo ge gonna: alizimba ekibuga kyange, era aliteera ddala abange abaagobebwa, si lwa muwendo so si lwa mpeera, bw'ayogera Mukama ow'eggye.
14 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Omulimu gw'e Misiri n'obuguzi bw'e Kuusi n'Abasabeya, abasajja abawanvu, balikusenga ne baba babo; balikugoberera; nga bali mu masamba balisenga: era balikuvuunamira balikwegayirira nga boogera nti Mazima Katonda ali mu ggwe; so tewali mulala, tewali Katonda.
15 Mazima ggwe Katonda eyeekweka, ggwe Katonda wa Isiraeri, Omulokozi.
16 Balikwatibwa ensonyi, weewaawo, baliswala, bonna: baligendera wamu mu kuswala abakola ebifaananyi.
17 Naye Isiraeri alirokolebwa Mukama n'obulokozi obutaliggwaawo: temuukwatibwenga nsonyi temuuswalenga emirembe n'emirembe.
18 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama eyatonda eggulu; ye Katonda; eyabumba ensi n'agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu; nti Nze Mukama; so tewali mulala.
19 Soogereranga mu kyama, mu kifo eky'omu nsi ey'ekizikiza; sigambanga zzadde lya Yakobo nti Munnoonyeze bwereere: nze Mukama njogera butuukirivu, mbuulira ebigambo bya nsonga.
20 Mwekuŋŋaanye mujje; musembere wamu, mmwe abawonye ku mawanga: tebalina magezi abasitula omuti ogw'ekifaananyi kyabwe ekyole ne beegayirira katonda atayinza kulokola.
21 Mubuulire mwolese; weewaawo, bateese wamu: ani eyalanga ekyo okuva mu biro eby'edda? ani eyakibuulira okuva edda? si nze Mukama? so tewali Katonda mulala wabula nze; Katonda omutuukirivu era omulokozi; tewali mulala wabula nze.
22 Mutunuulire nze, mulokoke, mmwe enkomerero zonna ez'ensi: kubanga nze Katonda so tewali mulala.
23 Neerayidde mwene, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu butuukirivu so tekirikomawo, nga nze buli vviivi lirinfukaamirira, buli lulimi lulirayira nze.
24 Walibaawo aliŋŋamba nti mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n'amaanyi: eri oyo abantu gye balijja, n'abo bonna abaamusunguwalira balikwatibwa ensonyi.
25 Mu Mukama ezzadde lyonna erya Isiraeri mwe liriweerwa obutuukirivu era mwe liryenyumiririza.