Chapter 24
1 Laba, Mukama ensi agimalamu byonna, era agizisa, era agivuunika, era asaasaanyiza ddala abagituulamu.
2 Era olulituuka ng'abantu bwe baliba, bw'atyo kabona bw'aliba; ng'omuddu bw'aliba, bw'atyo mukama we bw'aliba; ng'omuzaana bw'aliba, bw'atyo mugole we bw'aliba; ng'omuguzi bw'aliba, bw'atyo omutunzi bw'aliba; ng'awola bw'aliba, bw'atyo eyeewola bw'aliba; ng'aweebwa amagoba bw'aliba, bw'atyo amuwa amagoba bw'aliba.
3 Ensi erimalirwamu ddala byonna, era erinyagirwa ddala; kubanga Mukama ayogedde ekigambo ekyo.
4 Ensi ewuubaala era esaanuuka, ettaka liggwaamu amaanyi era lisaanuuka, abantu abagulumivu ab'ensi baggwaamu amaanyi.
5 Era ensi esiigiddwako empitambi wansi w'abagituulamu; kubanga basobezza amateeka, ne bawaanyisa ekiragiro, ne bamenya endagaano eteriggwaawo.
6 Ekikolimo kyekyava kirya ensi, n'abo abagituulamu balabise nga gubasinze: abatuula mu nsi kyebava bookebwa, abantu ne basigala batono.
7 Omwenge omusu guwuubaala, omuzabbibu guyongobera, bonna abalina emitima egisanyuka bassa ebikkowe.
8 Ekinyumu eky'ebitaasa kikoma, oluyoogaano lw'abo abasanyuka luggwaawo, essanyu ery'ennanga likoma.
9 Tebalinywa mwenge nga bayimba; ekitamiiza kirikaayirira abo abakinywa.
10 Ekibuga eky'okwetabula kimenyesemenyese: buli nnyumba eggaddwawo, omuntu yenna aleme okuyingiramu.
11 Waliwo okukaaba mu nguudo olw'omwenge; essanyu lyonna lizikizibwa, ekinyumu eky'ensi kigenze.
12 Mu kibuga musigadde okuzika, ne wankaaki akubiddwa n'okuzikirira.
13 Kubanga bwe kiti bwe kiribeera wakati mu nsi mu mawanga, nga bwe bakuba omuzeyituuni, nga bwe balonda ezabbibu okunoga nga kuwedde.
14 Bano baliyimusa eddoboozi lyabwe, balyogerera waggulu, olw'obukulu bwa Mukama baleekaana nga bayima ku nnyanja.
15 Kale mugulumize Mukama ebuvanjuba, erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri, mu bizinga eby'omu nnyanja.
16 Tuwulidde ennyimba nga ziva ku nkomerero y'ensi, ekitiibwa eri abatuukirivu. Naye ne njogera nti Nkoozimba, nkoozimba, zinsanze! abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza; weewaawo, abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza nnyo.
17 Entiisa n'obunnya n'omutego biri ku ggwe, ggwe atuula mu nsi.
18 Awo olulituuka oyo adduka eddoboozi ery'entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo alinnya okuva mu bunnya wakati omutego gulimukwata: kubanga ebituli ebya waggulu bigguddwawo, n'emisingi gy'ensi ginyeenya.
19 Ensi emenyekedde ddala, ensi esaanuukidde ddala, ensi ejjulukuse nnyo.
20 Ensi eritagatta ng'omutamiivu, era eriyuuguumizibwa ng'ensiisira; n'okusobya kwayo kuligizitoowerera, era erigwa n'etegolokoka nate.
21 Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alibonereza eggye ery'abagulumivu waggulu, ne bakabaka ab'ensi ku nsi.
22 Era balikuŋŋaanyizibwa wamu ng'abasibe bwe bakuŋŋaanyizibwa mu bunnya, era balisibirwa mu kkomera, era ennaku nnyingi aga ziyiseewo balijjirwa.
23 Kale omwezi gulikwatibwa ensonyi, n'enjuba eriswala; kubanga Mukama ow'eggye alifugira ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g'abakadde be n'ekitiibwa.