Chapter 9

1 Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali abonyaabonyezebwa. Edda yanyoomya ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera eky'oluvannyuma agifudde ya kitiibwa, awali ekkubo ery'ennyanja, emitala wa Yoludaani, Ggaliraaya ey'amawanga.
2 Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye omusana mungi: abo abaatuulanga mu nsi y'ekisiikirize ky'okufa, omusana gubaakidde bo.
3 Oyazizza eggwanga, oyongedde ku ssanyu lyabwe: basanyukira mu maaso go ng'essanyu bwe liri ery'omu makungula, abasajja nga bwe basanyuka nga bagereka omunyago.
4 Kubanga ekikoligo ekyamuzitoowerera, n'omuggo ogw'oku kibegabega kye, lwe luga lw'omujoozi we, obimenye nga ku lunaku lwa Midiyaani.
5 Kubanga ebyokulwanyisa byonna eby'oyo alina ebyokulwanyisa mu luyoogaano, n'ebyambalo ebikulukuunyizibbwa mu musaayi, biriba bya kwokebwa bwokebwa, okuba enku ez'omuliro.
6 Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi aweereddwa ffe; n'okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n'erinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu ow'emirembe.
7 Okufuga kwe n'emirembe tebirikoma kweyongeranga, ku ntebe ya Dawudi, ne ku bwakabaka bwe, okubunyweza, n'okubuwanirira n'omusango n'obutuukirivu okuva leero n'emirembe n'emirembe. Obunyiikivu bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo.
8 Mukama yaweereza Yakobo ekigambo, ne kigwa ku Isiraeri.
9 Era abantu bonna balimanya, Efulayimu n'abatuula mu Samaliya, aboogera n'amalala n'obukakanyavu bw'omutima nti
10 Amatoffaali gagudde, naye tulizimbya amayinja amateme: enkoma zitemeddwawo, naye tulizifuula ensambya.
11 Mukama kyaliva agulumiza abalabe ba Lezini okumulumba, era alisaakiriza abalabe be;
12 Abasuuli mu maaso, n'Abafirisuuti emabega; era balirya Isiraeri n'akamwa akayasamye. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.
13 Naye abantu tebaakyukiranga oyo eyabakuba, so tebaanoonyanga Mukama wa ggye.
14 Mukama kyaliva asalako ku Isiraeri omutwe n'omukira, olukindo n'ekitoogo, ku lunaku lumu.
15 Omusajja omukadde era ow'ekitiibwa gwe mutwe; ne nnabbi ayigiriza eby'obulimba gwe mukira.
16 Kubanga abakulembera abantu bano babakyamya; n'abo be bakulembera bazikirizibwa.
17 Mukama kyaliva alema okusanyukira abavubuka baabwe, so talisaasira baana baabwe abafiiriddwa bakitaabwe ne bannamwandu baabwe: kubanga buli muntu avvoola era akola ebibi, na buli kamwa koogera eby'obusiru. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako naye omukono gwe gukyagoloddwa.
18 Kubanga obubi bwokya ng'omuliro; gumalawo emyeramannyo n'amaggwa: weewaawo, gukoleera mu bisaka eby'omu kibira, ebire eby'omukka ebikutte ne binyooka ne birinnya waggulu.
19 Olw'obusungu bwa Mukama ow'eggye ensi eyiiridde ddala: era n'abantu bali ng'enku ez'omuliro; tewali asonyiwa muganda we.
20 Era omu alisika ku mukono ogwa ddyo, n'alumwa enjala; era alirya ku mukono ogwa kkono, so tebalikkuta: balirya buli muntu ennyama ey'onukono gwe ye:
21 Manase Efulayimu; ne Efulayimu Manase: era bombi wamu balikyawa Yuda. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.