Chapter 42
1 Laba omuweereza wange gwe mpanirira; omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira: ntadde omwoyo gwange ku ye; alyolesa omusango eri ab'amawanga.
2 Talireekaana so taliyimusa so taliwuliza ddoboozi lye mu luguudo.
3 Olumuli olubetentefu talirumenya so n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza: alyolesa omusango mu mazima.
4 Talizirika so talikeŋŋentererwa okutuusa lw'alisimba omusango mu nsi; n'ebizinga biririndirira amateeka ge.
5 Bw'atyo bw'ayogera Katonda, Mukama eyatonda eggulu n'alibamba; eyayanjuluza ensi n'ebyo ebigivaamu; awa omukka abantu abagiriko n'omwoyo abo abagitambulako:
6 nze Mukama nakuyita mu butuukirivu, era naakwatanga ku mukono gwo era naakukuumanga, ne nkuwa okubanga endagaano y'abantu, okubanga omusana eri ab'amawanga;
7 okuzibula amaaso g'abazibe b'amaaso, okuggya abasibe mu bunnya, n'abo abatuula mu kizikiza mu nnyumba ey'ekkomera.
8 Nze Mukama; eryo lye linnya lyange: n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newakubadde ettendo lyange eri ebifaananyi ebyole.
9 Laba, ebyasooka okubaawo bituuse, n'ebiggya mbibuulira: nga tebinnaba kulabika mbibabuulira.
10 Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, n'ettendo lye okuva ku nkomerero y'ensi; mmwe abaserengetera ku nnyanja ne byonna ebigirimu, ebizinga n'ababituulako.
11 Eddungu n'ebibuga byamu biyimuse eddoboozi lyabyo, ebyalo Kedali mw'atuula; abatuula mu Seera bayimbe, boogerere waggulu nga bayima ku ntikko z'ensozi.
12 Bamuwe Mukama ekitiibwa, era babuulire ettendo lye mu bizinga.
13 Mukama alifuluma ng'ow'amaanyi; alibakwasa obuggya ng'omutabaazi: alireekaana, weewaawo, alyogerera waggulu; alikola abalabe be eby'amaanyi.
14 Naludde okusirika; nabeerera awo ne nzibiikiriza: kaakano naayogerera waggulu ng'omukazi alumwa okuzaala; naalaakiira ne mpejjerawejjera wamu.
15 Ndizikiriza ensozi n'obusozi, ne mpotosa emiddo gyako gyonna; era ndifuula emigga ebizinga ne nkaliza ebidiba.
16 Era ndireeta abazibe b'amaaso mu kkubo lye batamanyi; mu mpitiro ze batamanyi mwe ndibayisa: ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe, n'ebifo ebikyamu ndibigolola. Ebyo ndibikola so siribaleka.
17 Balikyusibwa okudda ennyuma, balikwasibwa ensonyi nnyingi, abeesiga ebifaananyi ebyole, abagamba ebifaananyi ebisaanuuse nti Mmwe muli bakatonda baffe.
18 Muwulire, mmwe abaggavu b'amatu; mutunule, mmwe abazibe b'amaaso, mulyoke mulabe.
19 Ani omuzibe w'amaaso wabula omuweereza wange? oba muggavu wa matu wabula omubaka wange gwe ntuma? ani omuzibe w'amaaso ng'oyo eyatabagana nange era omuzibe w'amaaso ng'omuweereza wa Mukama?
20 Olaba bingi naye teweetegereza; amatu ge gagguse naye tawulira.
21 Mukama yasiima, olw'obutuukirivu bwe, okukuza amateeka n'okugassaamu ekitiibwa.
22 Naye bano be bantu abaanyagibwa ne batemulwa bo bonna bateegebwa mu bunnya, era bakwekeddwa mu nnyumba ez'amakomera: ba kunyagibwa so tewali awonya; ba kukambuulibwa so tewali ayogera nti Zzaayo.
23 Ani ku mmwe anaategera ekyo okutu? anaategereza n'awulira olw'ebiro ebigenda okujja?
24 Ani eyawaayo Yakobo okukambuulibwa ne Isiraeri eri abanyazi? si Mukama? oyo gwe twayonoona, so tebaaganya kutambulira mu makubo ge, so tebaagondera mateeka ge.
25 Kyeyava amufukako ekiruyi eky'obusungu bwe n'amaanyi ag'entalo; ne kimwokya enjuyi zonna era teyamanya; era kyamusonsomola, era teyakissaako mwoyo.