Chapter 53

1 Ani akkiriza ebigambo byaffe: era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
2 Kubanga yakulira mu maaso ge ng'ekisimbe ekigonvu era ng'ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu; talina mbala newakubadde obulungi; era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa.
3 Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike: era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu.
4 Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n'asitula ennaku zaffe: naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n'abonyaabonyezebwa.
5 Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.
6 Ffe fenna twawaba ng'endiga; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna.
7 Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n'atayasama kamwa ke; ng'omwana gw'endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng'endiga esirika mu maaso g'abo abagisalako ebyoya; weewaawo, teyayasama kamwa ke.
8 Yaggibwawo olw'okujoogebwa n'omusango; n'eby'ezzadde lye, ani ku bo eyalowooza nga yazikirizibwa mu nsi ey'abalamu? yakubibwa olw'okusobya kw'abantu bange.
9 Ne bamuziikira wamu n'ababi, era n'abagagga mu kufa kwe; newakubadde nga tagiranga kyejo, so nga temuli bukuusa mu kamwa ke.
10 Naye Mukama yasiima okumubetenta; amunakuwazizza: bw'ofuulanga obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n'ebyo Mukama by'ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe.
11 Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw'obulamu bwe, era birimumala: olw'okumumanya omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12 Kyendiva mmugabira omugabo wamu n'abakulu, era aligerekera omunyago wamu n'ab'amaanyi; kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n'abalirwa wamu n'abasobya: naye yeetikka ekibi ky'abangi, era yawolereza abasobya.