Chapter 65
1 Mbuuzibwako abo abatambuuzaagako; ndabiddwa abo abatannoonyanga: nagamba nti Ndaba, ndaba, eri eggwanga eritatuumibwanga linnya lyange.
2 Ngololedde emikono gyange okuzibya obudde abantu abajeemu abatambulira mu kkubo eritali ddungi, okugoberera ebirowoozo byabwe bo;
3 abantu abansunguwaza mu maaso gange olutata, nga basalira ssaddaaka mu nsuku, era nga bootereza obubaane ku matoffaali;
4 abatuula mu malaalo, abasula mu bifo eby'ekyama; abalya ennyama y'embizzi n'amazzi ag'emizizo gali mu bibya byabwe;
5 aboogera nti Yimirira wekka, tonsemberera nze kubanga nze nkusinga obutukuvu: abo gwe mukka mu nnyindo yange, omuliro ogwaka okuzibya obudde.
6 Laba, kiwandiikiddwa mu maaso gange: sirisirika, naye ndisasula, weewaawo, ndisasula mu kifuba kyabwe
7 obutali butuukirivu bwammwe mmwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjammwe wamu, bw'ayogera Mukama, abaayoterezanga obubaane ku asozi ne banzivoolera ku busozi: kyendiva nsooka okugera omulimu gwabwe mu kifuba kyabwe.
8 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omwenge omusu bwe gulabikira mu kirimba, ne wabaawo eyogera nti Tokizikiriza kubanga mulimu omukisa: bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaddu bange nneme okubazikiriza bonna.
9 Era ndiggya ezzadde mu Yakobo ne mu Yuda ndiggyamu alisikira ensozi zange: n'abalonde bange baligisikira n'abaddu bange balituula omwo.
10 Awo Saloni kiriba kisibo kya ndiga, n'ekiwonvu kya Akoli kiriba kifo ente we zigalamira, olw'abantu bange abannoonyezza.
11 Naye mmwe abaleka Mukama, abeerabira olusozi lwange olutukuvu, abategekera Mukisa emmeeza, abajjuliza Kuteekawo omwenge omutabule;
12 nze ndibateekerawo ekitala, nammwe mwenna mulikutama okuttibwa: kubanga bwe nnayita temwayitaba; bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira.
13 Kyava ayogera bw'ati Mukama Katonda nti Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala: laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta: laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala:
14 laba, abaddu bange baliyimba omutima gwabwe nga gusanyuse, naye mmwe mulikaaba omutima gwammwe nga gunakuwadde ne muwowoggana omwoyo gwammwe nga gulumiddwa.
15 Era mulirekera abalonde bange erinnya lyammwe okuba ekikolimo, era Mukama Katonda alikutta; n'atuuma abaddu be erinnya eddala:
16 eyeesabira omukisa mu nsi kyanaavanga yeesabira omukisa eri Katonda ow'amazima; n'oyo alayira mu nsi anaalayiranga Katonda ow'amazima; kubanga obuyinike obwasooka bwerabiddwa, era kubanga bukwekeddwa amaaso gange.
17 Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.
18 Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda: kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n'abantu baamu okuba essanyu.
19 Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange: so n'eddoboozi ery'okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery'okulira.
20 Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze: kubanga omwana alifa nga yaakamaze emyaka kikumi, n'alina ebibi nga yaakamaze emyaka kikumi alikolimirwa.
21 Era balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu ne balya ebibala byamu.
22 Tebalizimba omulala n'asulamu; tebalisimba omulala n'alya: kubanga ng'ennaku ez'omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez'abantu bange, n'abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw'engalo zaabwe.
23 Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa, n’enda yaabwe wamu nabo.
24 Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira.
25 Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu, n’empologoma eneeryanga omuddo ng'ente: n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw'ayogera Mukama.