Chapter 52

1 Zeddekiya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu gumu bwe yalya obwakabaka; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
2 N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, nga byonna bwe byali Yekoyakimu bye yali akoze.
3 Kubanga kyatuukirira olw'obusungu bwa Mukama mu Yerusaalemi ne Yuda okutuusa lwe yamala okubasuula okuva mu maaso ge: era Zeddekiya n'ajeemera kabaka w'e Babulooni.
4 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda ogw'okufuga kwe mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni n'ajja, ye n'eggye lye lyonna, okutabaala Yerusaalemi n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna.
5 Awo ekibuga ne kizingizibwa okutuuka ku mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa kabaka Zeddekiya.
6 Mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi enjala n'eba nnyingi mu kibuga, ne watabaawo mmere eri abantu ab'omu nsi.
7 Awo ne bawagula ekituli mu kibuga, abasajja bonna abalwanyi ne badduka ne bafuluma mu kibuga ekiro mu kkubo ery'omulyango wakati mu babbugwe ababiri, ogwaliraana olusuku lwa kabaka; (era Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga) enjuyi zonna ne bayita mu kkubo erya Alaba.
8 Naye eggye ery'Abakaludaaya ne bagoberera kabaka Zeddekiya ne bamuyisiriza mu nsenyi ez'e Yeriko; eggye lyonna ne lisaasaana okumuvaako.
9 Awo ne bawamba kabaka, ne bamwambusa eri kabaka w'e Babulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi; n'amusalira omusango.
10 Awo kabaka w'e Babulooni n'atta batabani ba Zeddekiya ye ng'alaba: era n'attira n'abakungu bonna aba Yuda e Libula.
11 Zeddekiya n'amugyamu amaaso; kabaka w'e Baulooni n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babulooni, n'amuteeka mu kkomera okutuusa ku lunaku kwe yafiira.
12 Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw’ekkumi olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa kabaka Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni, Nebuzaladaani mukulu w'abambowa, eyayimiriranga mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, n'ajja mu Yerusaalemi:
13 n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'enyumba zonna ez'omu Yeusaalemi, buli nnyumba ennene n'agyokya omuliro.
14 N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali wamu n'omukulu w'abambowa ne bamenya bbugwe yenna ow'e Yerusaalemi enjuyi zonna.
15 Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa nga basibe ku abo abasinga obwavu ku bantu n'ekitundu ekifisseewo ku bantu ekyali kisigadde mu kibuga n'abo abaali basenguse, abaasenga kabaka w’e Babulooni, n'ekitundu ekyali kisigaddewo eky'abakopi.
16 Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka ku abo abasinga obwavu mu nsi okulongoosanga emizabbibu n'okulimanga.
17 N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama Abakaludaaya ne babimenyaamenya, ne batwala e Babulooni ebikomo byabyo byonna.
18 Era n'entamu n'ebisena n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'ebijiiko n'ebintu byonna eby'ebikomo bye baaweerezanga nabyo ne babitwala.
19 N'ebikompe n'emmumbiro n'ebibya n'entamu n'ebikondo n'ebijiiko n'obubya; ebyali ebya zaabu, mu zaabu, n'ebyo ebyali ebya ffeeza, mu ffeeza, omukulu w'abambowa bwe yabitwala bw'atyo.
20 Empagi zombi, ennyanja emu, n'ente ennume ez'ebikomo ekkumi n'ebbiri ezaali wansi w'entebe, kabaka Sulemaani bye yakolera ennyumba ya Mukama: ebikomo eby'ebintu ebyo byonna tebyapimika.
21 N'empagi, obuwanvu bw'empagi emu emikono kkumi na munaana; n'omugwa ogw'emikono kkumi n'ebiri gwagyetooloola; n'obugazi bwayo bwali engalo nnya: yalimu omuwulukwa.
22 Era yaliko omutwe ogw'ekikomo; n'omutwe gumu obuwanvu bwagwo emikono etaano, omutwe nga guliko ebitimba n'amakomamawanga enjuyi zonna, byonna bya bikomo: n'empagi ey'okubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n'amakomamawanga.
23 Era ku mbiriizi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga; amakomamawanga gonna gaali kikumi ku bitimba enjuyi zonna.
24 Awo omukulu w'abambowa n'atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu:
25 n'aggya mu kibuga omwami eyatwalanga abasajja abalwanyi; n'abasajja musanvu ku abo abaalabanga amaaso ga kabaka, abaalabika mu kibuga; n'omuwandiisi ow'omukulu w'eggye eyayolesanga abantu ab'omu nsi; n'abasajja nkaaga ab'oku bantu ab'omu nsi abaalabika mu kibuga wakati.
26 Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abatwala n'abaleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula.
27 Kabaka w'e Babulooni n'abafumita n'abattira e Libula mu nsi ey'e Kamasi. Awo Yuda n'atwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.
28 Bano be bantu Nebukadduleeza be yatwala nga basibe: mu mwaka ogw'omusanvu Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu:
29 mu mwaka gwa Nebukadduleeza ogw'ekkumi n'omunaana n'atwala nga basibe okubaggya e Yerusaalemi abantu lunaana mu amakumi asatu mu babiri:
30 mu mwaka gwa Nebukadduleeza ogw'amakumi abiri mu esatu Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala nga basibe ku Bayudaaya abantu lusanvu mu amakumi ana mu bataano: abantu bonna baali enkumi nnya mu lukaaga.
31 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'amakumi abiri mu ttaano Evirumerodaaki kabaka w'e Babulooni mu mwaka ogw'olubereberye ogw'okufuga kwe n'ayimusa omutwe gwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, n'amuggya mu kkomera;
32 n'ayogera naye eby'ekisa, n'agulumiza entebe ye okusinga entebe za bakabaka abaali awamu naye mu Babulooni.
33 N'awaanyisa ebyambalo bye eby'omu kkomera, n'aliiranga emmere bulijjo mu maaso ge ennaku zonna ez'obulamu bwe.
34 Era okumuliisanga kabaka w'e Babulooni n'amusalira ebyenkalakkalira, omugabo ogw'oku buli lunaku okutuusa ku lunaku kwe yafiira, ennaku zonna ez'obulamu bwe.