Chapter 15
1 Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Musa ne Samwiri newakubadde nga bayimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano: bagobe mu maaso gange, baveewo.
2 Awo olulituuka bwe balikugamba nti Tunadda wa nga tuvuddewo? kale n'obagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ab'okuttibwa bagende eri okuttibwa; n'ab'ekitala eri ekitala; n'ab'enjala eri enjala; n'ab'okusibibwa eri okusibibwa.
3 Era ndibateekerawo engeri nnya, bw'ayogera Mukama: ekitala okutta, n'embwa okutaagula, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsi, okulya n'okuzikiriza.
4 Era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi, olwa Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda olw'ekyo kye yakolera mu Yerusaalemi.
5 Kubanga ani alikusaasira, ggwe Yerusaalemi? oba ani alikukungubagira? oba ani alikyama okubuuza ebifa gy'oli?
6 Oŋŋaanyi, bw'ayogera Mukama, ozze ennyuma; kyenvudde nkugololerako omukono gwange ne nkuzikiriza; nkooye okwejjusa.
7 Era n'abawujjira n'ekiwujjo mu miryango egy'ensi: mbaggyeeko abaana, nzikirizza abantu bange; tebaddanga okuva mu makubo gaabwe.
8 Bannamwandu baabwe beeyongedde gye ndi okusinga omusenyu ogw'ennyanja: ndeese ku bo ku nnyina w'abalenzi omunyazi mu ttuntu: mugwisizzaako obubalagaze n'ebitiisa nga tamanyiridde.
9 Eyazaala omusanvu ayongobera; atadde obulamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde: n'abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, bw'ayogera Mukama.
10 Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow'empaka eri ensi zonna siwolanga lwa magoba, so n'abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira,
11 Mukama yayogera nti Mazima ndikuwa amaanyi olw'obulungi; mazima ndikwegayiriza omulabe mu biro eby'okulabiramu ennaku ne mu biro eby'okubonyaabonyezebwamu.
12 Omuntu ayinza okumenya ekyuma, ekyuma ekiva obukiika obwa kkono, n'ekikomo?
13 Ebintu byo n'obugagga bwo ndibiwaayo okuba omunyago awatali muwendo, olw'ebibi byo byonna, mu nsalo zo zonna.
14 Era ndibiyisa wamu n'abalabe bo okugenda mu nsi gy'otomanyi: kubanga omuliro gukutte olw'obusungu bwange ogulibaakirako.
15 Ai Mukama, ggwe omanyi: njijukira onjijire, ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya; tonzigirawo ddala olw'okugumiikiriza kwo: manya nga nvumiddwa okunnanga ggwe.
16 Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n'ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n'okusanyuka kw'omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda ow'eggye.
17 Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly'abo ab'ebinyumu, so saasanyuka: natuula nzekka olw'omukono gwo; kubanga onjijuzizza okunyiiga.
18 Obulumi bwange bubeerera ki obw'olubeerera, n'ekiwundu kyange kibeerera ki ekitawonyezeka, ekigaana okulogebwa? kazzi oliba gye ndi ng'akagga akalimba, ng'amazzi agaggwaawo?
19 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Bw'olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw'olyawula eby'omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng'akamwa kange: balidda gy'oli naye ggwe toddanga gye bali.
20 Era ndikufuula eri abantu bano bbugwe ow'ekikomo aliko enkomera; era balirwana naawe, naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe okukulokola n'okukuwonya, bw'ayogera Mukama.
21 Era ndikuwonya mu mukono gw'ababi, era ndikununula okukuggya mu mukono gw'ab'entiisa.