Chapter 3
1 Boogera nti Omusajja bw'agoba mukazi we, naye n'amuvaako n'aba ow'omusajja omulala, omusajja oyo alimuddira nate? ensi yo teryonooneka nnyo? Naye ggwe weefuula omwenzi eri baganzi bo bangi; era naye nzirira nate, bw'ayogera Mukama.
2 Yimusa amaaso go eri ensozi ez'obweru olabe; we batasulira naawe wa? Wabatuulirira ku mabbali g'ekkubo, ng'Omuwalabu mu ddungu; era wayonoona ensi n'obwenzi bwo n'obubi bwo.
3 Empandaggirize kyezivudde ziziyizibwa, so tewabaddeewo ttoggo; era naye n'oba n'ekyenyi eky'omwenzi, wagaana okukwatibwa ensonyi.
4 Tonkaabirenga okuva leero nti Kitange, ggwe musaale w'obuto bwange?
5 Aliguguba n'obusungu bwe emirembe gyonna? aliremera mu bwo okutuusa enkomerero? Laba, wayogera n'okola ebigambo ebibi, n'okwata ekkubo lyo ggwe.
6 Era nate Mukama n'aŋŋambira mu mirembe gya Yosiya kabaka nti Olabye ekyo Isiraeri eyaseeseetuka ky'akoze? alinnye ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi, ne yeefuulira eyo omwenzi.
7 Ne njogera bwe yamala okukola ebyo byonna nti Alinzirira; naye n'atadda: ne mwannyina ow'enkwe Yuda n'akiraba.
8 Ne ndaba, bwe nnamala okugoba Isiraeri eyaseeseetuka ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba olw'ensonga eno kubanga ayenze, era naye Yuda ow'enkwe mwannyina n'atatya; naye era naye n'agenda ne yeefuula omwenzi.
9 Awo olwatuuka kubanga mwangu okwenda ensi n'eyonooneka, n'ayenda ku mayinja n'ebikonge.
10 Era naye ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo, mwannyina ow'enkwe Yuda tanziridde n'omutima gwe gwonna, naye ng'akuusakuusa, bw'ayogera Mukama.
11 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Isiraeri eyaseeseetuka yeeraze okuba omutuukirivu okukira Yuda ow'enkwe.
12 Genda olangire ebigambo bino ng'otunuulira obukiika obwa kkono, oyogere nti Komawo, ggwe Isiraeri eyaseeseetuka, bw'ayogera Mukama; siibatunuulire n'obusungu: kubanga nnina okusaasira, bw'ayogera Mukama, siriguguba na busungu emirembe gyonna.
13 Kyokka kkiriza obutali butuukirivu bwo, nga wasobya Mukama Katonda wo, n'osaasaanyiza amakubo go abagenyi wansi wa buli muti omubisi, so temwagondera ddoboozi lyange, bw'ayogera Mukama.
14 Komawo, mmwe abaana abadda ennyuma, bw'ayogera Mukama; kubanga nze bbammwe: era ndibatwala nga nziya omu ku kibuga n'ababiri ku kika, ne mbaleeta e Sayuuni:
15 era ndibawa abasumba ng'omutima gwange bwe guli abalibaliisa n'okumanya n'okutegeera.
16 Awo olulituuka bwe muliba nga mwaze era nga mweyongedde mu nsi, kale mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, nga tebakyayogera nti Essanduuko ey'endagaano ya Mukama; so teriyingira mu mwoyo gwabwe; so tebaligijjukira; so tebaligikyalira; so tebalikola nate bwe batyo.
17 Mu biro ebyo baliyita Yerusaalemi entebe ya Mukama; n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa eyo, eri erinnya lya Mukama e Yerusaalemi: so tebalitambula nate ng'obukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi bwe buli.
18 Mu biro ebyo ennyumba ya Yuda eritambulira wamu n'ennyumba ya Isiraeri, era baliviira wamu mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne bayingira mu nsi gye nnawa bajjajjammwe okuba obusika.
19 Naye ne njogera nti Ndikuteeka ntya mu baana, ne nkuwa ensi ey'essanyu, obusika obulungi mu ggye ly'amawanga? ne njogera nti Mulimpita nti Kitange; so temulikyuka obutangoberera.
20 Mazima omukazi nga bw'ava ku bba ng'asala olukwe, bwe mutyo nammwe bwe munsalidde enkwe, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama.
21 Eddoboozi liwuliddwa ku nsozi ez'obweru, okukaaba n'okwegayirira kw'abaana ba Isiraeri; kubanga banyodde ekkubo lyabwe, beerabidde Mukama Katonda waabwe.
22 Mukomeewo, mmwe abaana abaseeseetuse, naawonya okuseeseetuka kwammwe. Laba, tuzze gy'oli; kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
23 Mazima okubeerwa okusuubirwa okuva ku nsozi kwa bwereere, oluyoogaano oluli ku nsozi: mazima mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isiraeri.
24 Naye ekyo ekikwasa ensonyi kye kimazeewo emirimu gya bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe; embuzi zaabwe n'ente zaabwe, batabani baabwe n'abawala baabwe.
25 Tugalamire ensonyi nga zitukutte, okuswala kwaffe kutubikkeko: kubanga twonoonye Mukama Katonda waffe, ffe ne bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe ne leero: so tetugonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.