Chapter 40
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama, Nebuzaladaani omukulu w'abambowa bwe yamala okumuteera mu Laama, bwe yamutwala ng'asibiddwa mu masamba mu basibe bonna ab'e Yerusaalemi ne Yuda abaatwalibwa e Babulooni nga basibe.
2 Omukulu w'abambowa n'atwala Yeremiya n'amugamba nti Mukama Katonda wo yayogera obubi buno ku kifo kino
3 n'okuleeta Mukama abuleese, era akoze nga bwe yayogera; kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lye, ekigambo kino kyekivudde kibatuukako.
4 Kale nno, laba, nkusumulula leero mu masamba agali ku mukono gwo. Oba ng'osiima okujja nange okugenda e Babulooni, jjangu, nange naakukuumanga bulungi; naye oba ng'okiyita kibi okujja nange okugenda e Babulooni, lekayo: laba, ensi yonna eri mu maaso go gy'osiima okugenda era gy'osinga okwagala, gy'oba ogenda.
5 Awo bwe yali nga tannaddayo, n'ayogera nti Ddayo nno eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani Safani, kabaka w’e Babulooni gw’awadde okufuga ebibuga bya Yuda, obeere ewuwe mu bantu: oba genda yonna gy'osiima okugenda. Awo omukulu w'abambowa n'amuwa ebyokulya n'ekirabo n'amuta.
6 Awo Yeremiya n'agenda eri Gelaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, n'abeera ewuwe mu bantu abaali basigadde mu nsi.
7 Awo abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo, bo n'abasajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni awadde Gelaliya mutabani wa Akikamu okufuga ensi, era ng'amukwasizza abasajja n'abakazi n'abaana abato ne mu abo abasinga obwavu mu nsi, ku bo abataatwalibwa e Babulooni nga basibe;
8 awo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani ne Yonasaani batabani ba Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w'omu Maakasi, bo n'abasajja baabwe.
9 Awo Gedaliya nutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n'abalayirira bo n'abasajja baabwe ng'ayogera nti Temutya kuweereza Abakaludaaya: mubeere mu nsi, muweerezenga kabaka w'e Babulooni, era munaabanga bulungi.
10 Nze, laba, naabeeranga e Mizupa okuyimiriranga mu maaso g'Abakaludaaya abalijja gye tuli: naye mmwe mukuŋŋaanye omwenge n'ebibala eby'omu kyeya n'amafuta, mubiteeke mu bintu byammwe, mubeerenga mu bibuga byammwe bye mulidde.
11 Era bwe batyo Abayudaaya bonna abaali mu Mowaabu ne mu baana ba Amoni ne mu Edomu n'abo abaali mu nsi zonna bwe baawulira nga kabaka w'e Babulooni afissizzaawo ku Yuda era ng'akuzizza ku bo Gedaliya mutabani wa Akikaamu mutabani wa Safani;
12 kale Abayudaaya bonna ne bakomawo nga bava mu bifo byonna gye baali babagobedde ne bajja mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bakuŋŋaanya omwenge n'ebibala eby'omu kyeya bingi nnyo nnyini.
13 Era nate Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa
14 ne bamugamba nti Omanyi nga Baalisi kabaka w'abaana ba Amoni atumye Isimaeri mutabani wa Nesaniya okukutta? Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'atabakkiriza.
15 Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng'agamba nti Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzite Isimaeri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya: yandikuttidde ki, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanye gy'oli n'okusaasaana ne basaasaana, n'ekitundu kya Yuda ekifisseewo ne kizikirira?
16 Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'agamba Yokanani mutabani wa Kaleya nti Tokola kigambo ekyo: kubanga omuwaayiriza Isimaeri.