Chapter 34
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n'eggye lye lyonna n'ensi zonna eza bakabaka ez'oku nsi zaatwala n'amawanga gonna bwe baalwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byakyo byonna, nga kyogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Genda ogambe Zeddekiya kabaka wa Yuda omubuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndigabula ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, era alikyokya omuliro:
3 so naawe toliwona mu mukono gwe, naye tolirema kuwambibwa n'oweebwayo mu mukono gwe; n'amaaso go galiraba amaaso ga kabaka w'e Babulooni, era alyogera naawe akamwa n'akamwa, era oligenda e Babulooni.
4 Era naye wulira ekigambo kya Mukama, ai Zeddekiya kabaka wa Yuda; bw'ati bw'ayogera Mukama ku ggwe nti Tolifa na kitala;
5 olifa mirembe; era ng'okwokya bwe kwabanga okwa bajjajjaabo bassekabaka ab'edda abaakusooka, bwe batyo bwe balikukolera okwokya; era balikukungubagira nga boogera nti Woowe, Mukama waffe! kubanga njogedde ekigambo ekyo, bw'ayogera Mukama.
6 Awo Yeremiya nnabbi n'agamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ebigambo ebyo byonna mu Yerusaalemi,
7 eggye lya kabaka w’e Babulooni bwe lyali nga lirwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bisigaddewo, Lakisi ne Azeka; kubanga ebyo byokka bye byasigalawo ku bibuga bya Yuda nga biriko enkomera.
8 Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yali ng'amaze okulagaana endagaano n'abantu bonna abaali mu Yerusaalemi, okubalangira eddembe;
9 buli muntu ate omuddu we na buli muntu ate omuzaana we, oba nga Omwebbulaniya, musajja oba mukazi, okuba ow'eddembe; waleme okubaawo abafuula abaddu, Omuyudaaya muganda we:
10 awo abakungu bonna n'abantu bonna ne bagonda, abaali balagaanye endagaano buli muntu okuta omuddu we na buli muntu okuta omuzaana we okuba ow'eddembe, baleme kufuulibwa abaddu nate; ne bagonda ne babata:
11 naye oluvannyuma ne bakyuka, ne bakomyawo abaddu n'abazaana be baali batadde, ne babafuga okuba abaddu n'abazaana:
12 ekigambo kya Mukama kyekyava kijjira Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti
13 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nalagaana endagaano ne bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri mu nnyumba ey'obuddu, nga njogera nti
14 Emyaka musanvu bwe giggwangako, mutanga buli muntu muganda we Omwebbulaniya gwe baakuguza era eyakuweerereza emyaka mukaaga, omutanga okuba ow'eddembe okuva w'oli: naye bajjajjammwe ne batampulira, so tebaatega kutu kwabwe.
15 Nammwe kaakano mwali mukyuse era nga mukoze ekiri mu maaso gange ekirungi, nga mulangirira eddembe buli muntu eri munne; era mwali mulagaanidde endagaano mu maaso gange mu nnyumba etuumiddwa erinnya lyange:
16 Naye ne mukyuka ne muvumisa erinnya lyange, ne mukomyawo buli muntu omuddu we na buli muntu omuzaana we, be mwali mutadde okuba ab'eddembe nga bwe baagala; ne mubafuga okuba gye muli abaddu n'abazaana.
17 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Temumpulidde okulangira eddembe buli muntu eri muganda we na buli muntu eri munne: laba, nze mbalangira mmwe eddembe, bw'ayogera Mukama, eri ekitala n'eri kawumpuli n'eri enjala; era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka ez'oku ttaka.
18 Era ndiwaayo abasajja abaasobya endagaano yange abatakoze bigambo bya ndagaano gye baalagaanira mu maaso gange, bwe baasala mu nnyana ebitundu ebibiri ne bayita wakati w'ebitundu byayo;
19 Abakungu ba Yuda n'abakungu ba Yerusaalemi, abalaawe ne bakabona n'abantu bonna ab'omu nsi abaayita wakati w'ebitundu by'ennyana;
20 okuwaayo ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: n'emirambo gyabwe giriba nmere eri ennyonyi ez'omu ggulu n’eri ensolo ez'omu nsi.
21 Era Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gw'eggye lya kabaka w’e Babulooni ababavuddeko abambuse.
22 Laba, ndiragira, bw'ayogera Mukama, ne mbakomyawo ku kibuga kino; era balirwana nakyo ne bakimenya ne bakyokya omuliro: era ndifuula ebibuga bya Yuda amatongo nga temuli abibeeramu.