Chapter 43

1 Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera n'abantu bonna ebigambo byonn, ebya Mukama Katonda waabwe Mukama Katonda waabwe bye yali amutumye gye bali, bye bigambo ebyo byonna,
2 awo Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanani mu tabani wa Kaleya n'abasajja bonna ab'amalala ne boogera nga bagamba Yeremiya nti Olimba: Mukama Katonda waffe takutumye okwogera nti Temuyingiranga mu Misiri okubeera omwo:
3 naye Baluki mutabani wa Neriya ye akutuweeredde okutugabula mu mukono gw'Abakaludaaya balyoke batutte batutwale e Babulooni nga tuli basibe.
4 Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole n'abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Mukama okubeera mu nsi ya Yuda.
5 Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole ne batwala ekitundu kyonna ekya Yuda abaafikkawo abaali bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali babagobedde okubeera mu nsi ya Yuda;
6 abasajja n'abakazi n'abaana abato n'abawala ba kabaka na buli muntu Nebuzaladaani omukulu wa bambowa gwe yalekera Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, ne Yeremiya nnabbi ne Baluki mutabani wa Neriya;
7 ne bayingira mu nsi y'e Misiri; kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama: ne batuuka n'e Tapanesi.
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya e Tapanesi nga kyogera nti
9 Ddira amayinja amanene mu mukono gwo ogakweke mu ttaka ery'omu matoffaali agali awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo e Tapanesi, abasajja ba Yuda nga balaba
10 obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndituma ne nzirira Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni omuddu wange, ne nteeka entebe ye ku mayinja gano ge nkwese; era alitimba eweema ye eya kabaka ku go.
11 Era alijja n'akuba ensi y'e Misiri; ab'okuttibwa baliweebwawo eri okuttibwa, n’ab'obusibe eri obusibe, n'ab'ekiala eri ekitala.
12 Era ndikuma omuliro mu nnyumba za bakatonda b'e Misiri; era alibookya n'abatwala nga basibe: era alyambala ensi y'e Misiri ng'omusumba bw'ayambala ekyambalo kye; era alivaayo mirenbe.
13 Era alimenya empagi ez'e Besusemeesi ekiri mu nsi y'e Misiri; n'ennyumba za bakatonda b'e Misiri alizookya omuliro.