Chapter 31
1 Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, ndiba Katonda w'enda zonna eza Isiraeri, nabo baliba bantu bange.
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Abantu abafikkawo ku kitala baalaba ekisa mu ddungu; Isiraeri, bwe nnagenda okumuwummuza
3 Mukama yandabikira dda ng'ayogera nti Weewaawo, nkwagadde n'okwagala okutaliggwaawo: kyenvudde nkuwalula n'ekisa.
4 Ndikuzimba nate, naawe olizimbibwa, ggwe omuwala wa Isiraeri: oliyonjebwa nate n'ebitaasa byo, era olifuluma mu kuzina ku abo abasanyuka.
5 Olisimba nate ensuku ez'emizabbibu ku nsozi ez'e Samaliya: abasimbi balisimba ne balya ebibala byamu.
6 Kubanga olunaku lulituuka abo abakuumira ku nsozi za Efulayimu lwe balikaaba nti Mugolokoke, twambuke e Sayuuni eri Mukama Katonda waffe.
7 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Muyimbe olwa Yakobo n'essanyu, mwogerere waggulu olw'omukulu w'amawanga: mulange, mutendereze, mwogere nti Ai Mukama, lokola abantu bo abafisseewo ku Isiraeri.
8 Laba, ndibaggya mu nsi ey'obukiika obwa kkono, ne mbakuŋŋaanya okuva mu njuyi z'ensi ezikomererayo, era wamu nabo omuzibe w'amaaso n'awenyera, omukazi ali olubuto n'oyo alumwa okuzaala wamu: balikomawo wano ekibiina kinene.
9 Balijja nga bakaaba amaziga, era ndibaleeta nga beegayirira: ndibatambuza ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittala: kubanga ndi kitaawe eri Isiraeri, ne Efulayimu ye mubereberye wange.
10 Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe amawanga, mukibuulirire ku bizinga ebiri ewala; mwogere nti Oyo eyasaasaanya Isiraeri ye alimukuŋŋaanya, era anaamukuumanga ng'omusumba bw'akuuma ekisibo kye
11 Kubanga Mukama anunudde Yakobo, era amuguze okumuggya mu mukono gw'oyo eyamusinga amaanyi.
12 Kale balijja ne bayimbira ku ntikko ya Sayuuni, era balikulukutira wamu awali obulungi bwa Mukama, awali eŋŋaano n'awali omwenge n'awali amafuta n'awali abaana b'embuzi n'ab'ente: n'emmeeme yaabwe eriba ng'olusuku olufukirirwa amazzi, so tebalibaako buyinike nate n'akatono.
13 Awo omuwala lw'alisanyukira amazina, n'abalenzi n'abakadde wamu: kubanga okukungubaga kwabwe ndikufuula essanyu, era ndibakubagiza ne mbasanyusa okuva mu buyinike bwabwe.
14 Era ndinyiya amasavu, emmeeme ya bakabona, n'abantu bange balinyiwa obulungi bwange, bw'ayogera Mukama.
15 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eddoboozi liwuliddwa mu Laama, okukungubaga n'okukaaba amaziga mangi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; agaana okukubagizibwa olw'abaana be, kubanga tewakyali.
16 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Zibiikiriza eddoboozi lyo lireme okukaaba, n’amaaso go galeme okuleeta amaziga: kubanga omulimu gwo guliweebwa empeera, bw'ayogera Mukama; era balidda nate okuva mu nsi y'omulabe.
17 Era waliwo essuubi ery'enkomerero yo, bw'ayogera Mukama; n'abaana bo balijja nate mu nsalo yaabwe bo.
18 Mazima mpulidde Efulayimu nga yeekaabirako bw'ati nti Onkangavvudde ne nkagavvulwa ng'ennyana etemanyidde kikoligo; nkyusa ggwe nange naakyusibwa; kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 Mazima bwe nnamala okukyusibwa ne nneenenya; era bwe nnamala okuyigirizibwa ne nkuba ku kisambi kyange: nakwatibwa ensonyi, weewaawo, naswala kubanga nasitula ekivume eky'omu buto bwange.
20 Efulayimu mwana wange omwagalwa? mwana ansanyusa? kubanga buli lwe mmwogerako obubi nkyamujjukira nnyo nnyini: omwoyo gwange kyeguvudde gunnuma ku lulwe; sirirema kumukwatirwa kisa, bw'ayogera Mukama.
21 Weesimbire obubonero ku kkubo, weekolere empagi ezitegeeza: teeka omutima gwo awali oluguudo, lye kkubo lye wafulumamu: komawo, ai omuwala wa Isiraeri, komawo mu bibuga byo bino.
22 Olituusa wa okutambula ng'odda eno n'eri, ai ggwe omuwala adda ennyuma? kubanga Mukama atonze ekigambo ekiggya mu nsi, omukazi alyetooloola omusajja.
23 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Oliboolyawo ne boogera nate ekigambo kino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo, bwe ndikomyawo obusibe bwabwe, nti Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, ggwe olusozi olw'obutukuvu.
24 Awo Yuda n'ebibuga byayo byonna balituula omwo wamu; abalimi n'abo abatambula nga balina ebisibo.
25 Kubanga nzikusizza emmeeme ekooye, na buli mmeeme eriko obuyinike ngijjuzizza.
26 Awo ne ndyoka nzuukuka ne ndaba; otulo twange ne tumpoomera.
27 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndisiga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda n'ensigo ey'abantu n'ensigo ey'ensolo.
28 Awo olulituuka nga bwe nnabalabiriranga okusimbula n'okumenyaamenya n'okusuula n'okuzikiriza n'okubonyaabonya; bwe ntyo bwe ndibalabirira okuzimba n'okusimba, bw'ayogera Mukama.
29 Mu nnaku ezo nga tebakyayogera nate nti Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyuunyuntula, n'amannyo g'abaana ganyenyeera.
30 Naye buli muntu alifa olw'obutali butuukirivti bwe ye: buli muntu alya ezabbibu ezinyuunyuntula, amannyo ge ge galinyenyeera.
31 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda:
32 si ng'endagaano bwe yali gye nnalagaana ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri; endagaano yange eyo ne bagimenya newakubadde nga nnali mbawasizza, bw'ayogera Mukama.
33 Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw'ennaku ezo, bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiikira; nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange:
34 nga olwo omuntu tokyayigiriza munne na buli muntu muganda we nga boogera nti Manya Mukama: kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, bw'ayogera Mukama: kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe sirikijjukira nate.
35 Bw'atyo bw'ayogera Mukama awa enjuba okwakanga emisana n'okulagira okw'omwezi n'emmunyeenye okwakanga ekiro, afukula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; Mukama w'eggye lye linnya lye, nti
36 Ebiragiro bino bwe biriva mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, kale n'ezzadde lya Isiraeri lirireka okuba eggwanga mu maaso gange ennaku zonna.
37 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eggulu eriri waggulu oba nga liyinzika okugerebwa, n'emisingi gy'ensi oba nga giyinzika okukeberwa wansi, kale nange ndisuula ezzadde lyonna erya Isiraeri olwa byonna bye bakola, bw'ayogera Mukama.
38 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekibuga lwe kirizimbirwa Mukama okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda.
39 Oliboolyawo omugwa ogugera ne gufuluma nga guttulukuse okutuuka ku lusozi Galebu, era gulikyuka ne gutuuka ku Gowa.
40 N'ekiwonvu kyonna eky'emirambo n'eky'evvu n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni, okutuuka ku nsonda ey'omulyango ogw'embalaasi okwolekera ebuvanjuba, kiriba kitukuvu eri Mukama: so tekirisimbulwa so tekirisuulibwa nate emirembe gyonna.