Chapter 35
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyogera nti
2 Genda eri ekika eky'Abalekabu oyogere nabo obayingize mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge ekimu, obawe omwenge okunywa.
3 Kale ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna n'ekika kyonna eky'Abalekabu;
4 ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda, ekyaliraana ekisenge eky'abakungu, ekyali waggulu w'ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omuggazi:
5 ne nteeka ebita ebijjudde omwenge n'ebikompe mu maaso g'abaana b'ekika eky'Abalekabu, ne mbagamba nti Munywe omwenge.
6 Naye bo ne boogera nti Tetuunywe ku mwenge: kubanga Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe yatulagira ng'ayogera nti Temunywanga ku mwenge, mmwe newakubadde batabani bammwe, emirembe gyonna:
7 so temuzimbanga nnyumba so temusiganga nsigo, so temusimbanga lusuku lwa mizabbibu so temubanga nazo: naye munaamalanga ennaku zammwe zonna mu weema; muwangaale ennaku nnyingi mu nsi gye mutuulamu.
8 Era twagondera eddoboozi lya Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe mu byonna bye yatukuutira, obutanywanga ku mwenge ennaku zaffe zonna, ffe ne bakazi baffe ne batabani baffe ne bawala baffe;
9 newakubadde okwezimbira ennyumba okutuulamu: so tetulina lusuku lwa mizabbibu newakubadde ennimiro newakubadde ensigo.
10 naye twabanga mu weema ne tugonda ne tukola nga byonna bwe byali Yonadaabu jjajjaffe bye yatulagira.
11 Naye olwatuuka Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni bwe yatabaala ensi, ne twogera nti Mujje tugende e Yerusaalemi olw'okutya eggye ery'Abakaludaaya n'olw'okutya eggye ery'Abasuuli; kyetuva tubeera e Yerusaalemi.
12 Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya nga kyogera nti
13 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Genda obagambe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti Temukkirize kuyigirizibwa okuwuliriza ebigambo byange? bw'ayogera Mukama.
14 Ebigambo bya Yonadaabu mutabani wa Lekabu bye yalagira batabani be, obutanywanga ku mwenge, byatuukirizibwa, so tebanywako na guno gujwa, kubanga bagondera ekiragiro kya jjajjaabwe: naye nze nayogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; so temumpulirizanga.
15 N'okutuma mbatumidde abaddu bange bonna bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, nga njogera nti Mudde nno buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi, mulongoose ebikolwa byammwe, so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga, kale mulituula mu nsi gye nnawa mmwe ne bajjajjammwe; naye temuteganga kutu kwammwe so temumpulirizanga.
16 Kubanga batabani ba Yonadaabu mutabani wa Lekabu batuukirizza ekiragiro kya jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebampulirizza;
17 Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta ku Yuda ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi obubi bwonna bwe nnaakaboogerako: kubanga nayogera nabo, naye ne batawulira; era mbayise, naye ne batayitaba.
18 Awo Yeremiya n'agamba ekika eky'Abalekabu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga mugondedde ekiragiro kya Yonadaabu jjajjajjammwe ne mukwata byonna bye yakuutira ne mukola nga byonna bwe byali bye yabalagira;
19 Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Yonadaabu mutabani wa Lekabu taabulwenga musajja wa kuyimirira mu maaso gange ennaku zonna.