Chapter 13

1 Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti Genda weegulire olukoba lw'eddiba, weesibe mu kiwato kyo, so tolunnyika mu mazzi.
2 Awo ne nneegulira olukoba, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama; ne ndwesiba mu kiwato kyange.
3 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira omulundi ogw'okubiri nga kyogera nti
4 Ddira olukoba lwe wagula oluli mu kiwato kyo, ogolokoke ogende ku Fulaati, olukisize eyo mu bunnya obw'omu lwazi.
5 Awo ne ŋŋenda ne ndukwekera ku Fulaati, nga Mukama bwe yandagira.
6 Awo olwatuuka ennaku nnyingi nga ziyiseewo Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ogende ku Fulaati oggyeyo olukoba lwe nnakulagira okulukisiza eyo.
7 Awo ne ŋŋenda ku Fulaati ne nsima ne nziya olukoba mu kifo mwe nnali ndukisirizza: kale, laba, olukoba nga lwonoonese, nga teruliiko kye lugasa.
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndyonoona amalala ga Yuda n'amalala amangi aga Yerusaalemi.
10 Abantu bano ababi abagaana okuwulira ebigambo byange, abatambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe, era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, balibeerera ddala ng'olukoba luno olutaliiko kye lugasa.
11 Kuba olukoba nga bwe lwegatta n'ekiwato ky'omuntu, bwe ntyo bwe nneegasse nange ennyumba yonna eya Isiraeri n'ennyumba yonna eya Yuda, bw'ayogera Mukama; balyoke babeerenga gye ndi eggwanga era erinnya era ettendo era ekitiibwa: naye ne batayagala kuwulira.
12 Kyoliva obagamba ekigambo kino nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti Buli kita kirijjula omwenge nabo balikugamba nti Tetumanyi nga buli kita kirijjula omwenge.
13 Awo n'olyoka obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndijjuza obutamiivu bonna abali mu nsi eno, bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi, ne bakabona ne bannabbi, ne bonna abali mi Yerusaalemi.
14 Era ndibatandagira omuntu ne munne, bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, bw'ayogera Mukama: sirisaasira so sirisonyiwa so sirikwatibwa kisa, nneme okubazikiriza.
15 Muwulire, mutege amatu; temuba na malala: kubanga Mukama ayogedde.
16 Mumuwe Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga tannaleeta kizikiza era ng'ebigere byammwe tebinnaba kwesittalira ku nsozi ez'ekizikiza; era nga bwe musuubira omusana, n'agufuula ekisiikirize eky'okufa n'aguddugaza okuba ekizikiza ekikutte.
17 Naye bwe mutalikkiriza kuwulira emmeene yange erikaaba amaziga kyama olw'amalala gammwe; n'amaaso gange galikaaba nnyo amaziga, ne gakulukuta amaziga, kubanga ekisibo kya Mukama kikwatiddwa.
18 Gamba kabaka ne nnamasole nti Mwetoowaze mutuule wansi; kubanga ebiremba byammwe bikkakkanye, engule ey'ekitiibwa kyammwe:
19 Ebibuga eby'obukiika obwa ddyo biggaddwawo, so tewali wa kubiggulawo: Yuda atwaliddwa yenna nga musibe; yenna atwaliddwa ddala nga musibe.
20 Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava obukiika obwa kkono: ekisibo kye waweebwa kiri ludda wa, ekisibo kyo ekirungi?
21 Olyogera otya, bw'alikuteekako mikwano gyo okuba omutwe, kubanga ggwe kennyini ggwe wabayigiriza okukukola obubi? obuyinike tebulikukwata ng'omukazi alumwa okuzaala?
22 Era bw'onooyogerera mu mutima gwo nti Ebigambo bino binjijiridde lwaki? olw'obutali butuukirivu bwo kubanga bungi, ebirenge byo kyebivudde bibikkulwako, n'ebisinziiro byo bigirirwa ekyejo.
23 Omuwesiyopya ayinza okuwaanyisa omubiri gwe, oba ngo amabala gaayo? kale nammwe muyinza okukola obulungi abaamanyiira okukola obubi.
24 Kyendiva mbasaasaanya ng'ebisasiro ebivaawo olw'embuyaga ez'omu ddungu.
25 Kano ke kalulu ko, omugabo gwe nnakugerera, bw'ayogera Mukama; kubanga wanneerabira ne weesiga obulimba.
26 Nange kyendiva mbikkula ku birenge byo ku maaso go, n'ensonyi zo zirirabika.
27 Nalaba emizizo gyo, obwenzi bwo n'okubebera kwo, obukaba obw'okwenda kwo, ku nsozi ez'omu ttale. Zikusanze, ai Yerusaalemi toyagala kulongoosebwa; ebyo birituusa wa okubaawo nate?