Chapter 33
1 Era nate ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya omulundi ogw'okubiri, bwe yali ng'akyasibibwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama akikola, Mukama akibumba okukinyweza Mukama lye linnya lye; nti
3 Mpita, nange naakuyitaba ne nkwolesa ebikulu n'ebizibu by'otomanyi.
4 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri eby'ennyumba ez'omu kibuga kino n'eby'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezaabizibwa okulwana ne nkomera n'ekitala, nti
5 Bajja okulwana n'Abakaludaaya, naye kuzijjuza bujjuza mirambo gya bantu be nzise n'obusungu bwange n'ekiruyi kyange, obubi bwabwe bwonna bwe bunkisizisizza amaaso gange ekibuga kino:
6 Laba, ndikireetera obulamu n'okuwonyezebwa, nange ndibawonya; era ndibabikkulira emirembe n'amazima bingi nnyo nnyini.
7 Era ndikomyawo obusibe bwa Yuda n'obusibe bwa Isiraeri, era ndibazimba ng'olubereberye.
8 Era ndibanaazaako obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona; era ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona era bwe bansobya.
9 N'ekibuga kino kiriba gye ndi erinnya ery'essanyu, n'ettendo n'ekitiibwa, mu maaso g'amawanga gonna ag'oku nsi agaliwulira obulungi bwonna bwe mbakola, ne batya ne bakankana olw'obulungi bwonna n'olw'emirembe gyonna bye nkifunira.
10 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oliboolyawo ne muwulirwa mu kifo kino kye mwogerako nti Kizise, temuli muntu newakubadde ensolo, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ezizise nga temuli muntu newakubadde azibeeramu, era nga temuli nsolo,
11 eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, eddoboozi ly'abo aboogera nti Mumwebaze Mukama w'eggye kubanga Mukama mulungi, kubanga okusaasira kwe kwa lubeerera: n'ery'abo abaleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Kubanga ndikomyawo obusibe obw'ensi ng'olubereberye, bw'ayogera Mukama w'eggye.
12 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ne mubeera mu kifo kino ekizise, nga temuli muntu era nga temuli nsolo, ne mu bibuga byakyo byonna, olusiisira olw'abasumba abagalamiza ebisibo byabwe.
13 Ebisibo biriyita nate wansi w'emikono gy'oyo abibala mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensenyi ne mu bibuga eby'obukiika obwa ddyo ne mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda, bw'ayogera Mukama.
14 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndituukiriza ekigambo ekyo ekirungi kye nnayogera ku nnyumba ya Isiraeri ne ku nnyumba ya Yuda.
15 Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo ndimereza Dawudi Ettabi ery'obutuukirivu; era oyo alituukiriza eby'obutuukirivu n'eby'ensonga mu nsi.
16 Mu nnaku ezo Yuda alirokoka ne Yerusaalemi kirituula mirembe: na lino lye linnya lye kirituumibwa, nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.
17 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Dawudi taabulwenga musajja wa kutuula ku ntebe ey'ennyumba ya Isiraeri emirembe gyonna;
18 so ne bakabona, Abaleevi, tebaabulwenga musajja mu maaso gange ow'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okwokya ebitone n'okusalanga ssaddaaka olutata.
19 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kyogera nti
20 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oba nga muyinza okumenya endagaano yange ey'emisana n'endagaano yange ey'ekiro, waleme okubaawo emisana n'ekiro mu ntuuko zaabyo;
21 kale n’endagaano eyinzika okumenyeka eri Dawudi omuddu wange, aleme okuba n'omwana okufugira ku ntebe ye; n'eri Abaleevi, bakabona, abaweereza bange.
22 Ng'eggye ery'omu ggulu bwe litayinzika kubalibwa, so n'omusenyu ogw'ennyanja okugerebwa; bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuddu wange n'Abaleevi abampeereza.
23 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kyogera nti
24 Tolowooza abantu bano bye boogedde! nti Enda zombi Mukama ze yalonda azisudde? bwe batyo bwe banyooma abantu bange baleme okuba nate eggwanga mu maaso gaabwe.
25 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Endagaano yange ey'emisana n'ekiro oba nga tenywera, oba nga sassaawo biragiro by'eggulu n'ensi;
26 kale ndisuula n'ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuddu wange, nneme okutwala ku zzadde lye okufuganga ezzadde lya Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo: kubanga ndikomyawo obusibe bwabwe, era ndibasaasira.