Chapter 30
1 Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Weewandiikire mu kitabo ebigambo byonna bye nnaakakubuulira.
3 Kubanga ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndikyusa nate obusibe bw'abantu bange Isiraeri ne Yuda, bw'ayogera Mukama: era ndibakomyawo mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, era baligirya.
4 Era bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebya Isiraeri n'ebya Yuda.
5 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Tuwulidde eddoboozi ery'okukankana, ery'okutya so si lya mirembe.
6 Mubuuze nno mulabe oba ng'omusajja alumwa okuzaala: kiki ekindabya buli musajja emikono gye nga gikutte mu mbinabina ng'omukazi alumwa okuzaala, n'amaaso gonna gafuuse ebbala lyago?
7 Woowe kubanga olunaku olwo lukulu so tewali lulwenkana: kye kiseera Yakobo mw'alabira ennaku; naye alirokoka mu zo.
8 Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndimenya ekikoligo kye ku nsingo yo, era ndikutula ebisiba byo; so bannaggwanga nga tebakyamufuula muddu nate:
9 naye baliba baddu ba Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe gwe ndibayimusiza.
10 Kale totya, ai Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; so tokeŋŋentererwa, ai Isiraeri: kubanga, laba, ndikulokola nga nnyima wala, n'ezzadde lyo nga nnyima mu nsi ey'obusibe bwabwe; awo Yakobo alikomawo, era alitereera, alyessa, so tewaliba alimutiisa.
11 Kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukulokola: kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza, naye ggwe sirikumalira ddala: naye ndikubuulirira mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.
12 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ebbwa lyo teriwonyezeka, n'ekiwundu kyo kya kitalo.
13 Tewali wa kukuwolereza, onyigibwe: tolina ddagala eriwonya.
14 Baganzi bo bonna bakwerabidde; tebakunoonya: kubanga nkufumise ekiwundu eky'omulabe, okukangavvula okw'omukambwe; kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, kubanga ebibi byo byali byeyongedde.
15 Okaabira ki olw'ekiwundu kyo? obulumi bwo tebuwonyezeka: kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, kubanga ebibi byo byali byeyongedde, kyenvudde nkukola ebyo.
16 Abo bonna abakulya kyebaliva baliibwa; n'abalabe bo bonna buli omu ku bo baligenda mu kusibibwa; n'abo abakunyaga baliba munyago, n'abo bonna abakuyigga ndibagabula okuba omuyiggo.
17 Kubanga ndikukomezaawo obulamu, era ndikuwonya ebiwundu byo, bw'ayogera Mukama; kubanga bakuyise eyagobebwa, nga boogera nti Ye Sayuuni omuntu yenna gw'atanoonya.
18 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikyusa nate obusibe bw'eweema za Yakobo, era ndisaasira ennyumba ze; n'ekibuga kirizimbibwa ku kifunvu kyakyo, n'olubiri lulisigalawo ng'engeri yaalwo bw'eri.
19 Awo mu byo muliva okwebaza n'eddoboozi ly'abo abasanyuka: era ndibaaza, so tebaliba batono; era ndibawa ekitiibwa, so tebaliba bato.
20 Era n'abaana baabwe baliba nga bwe baali olubereberye, n'ekibiina kyabwe kirinywezebwa mu maaso gange, era ndibonereza bonna abalibajooga.
21 N'omulangira waabwe aliba munnaabwe bo, n'oyo alibafuga aliva mu bo wakati; era ndimusembeza, era alijja we ndi kubanga ani eyali ayaŋŋanze okujja we ndi? bw'ayogera Mukama.
22 Nammwe munaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda wammwe.
23 Laba, kibuyaga wa Mukama kye kiruyi kye, afulumye, kibuyaga ayera: aligwa ku mutwe gw'ababi.
24 Obusungu bwa Mukama omukambwe tebulidda okutuusa lw'alimala okutuukiriza, okutuusa lw'alikomekkereza omutima gwe gye gumaliridde: mu nnaku ez'oluvannyuma mwe mulikitegeerera.