Chapter 18
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nti
2 Golokoka oserengete eri ennyumba ey'omubumbi, era eyo gye nnaakuwuliriza ebigambo byange.
3 Awo ne nserengeta eri ennyumba ey'omubumbi, kale, laba, ng'akolera omulimu gwe ku bannamuziga.
4 Awo ekintu kye yali akola n'ebbumba bwe kyayonoonekera mu mukono gw'omubumbi, n'akibumba nate okuba ekintu ekirala ng'omubumbi bwe yasiima okukibumba.
5 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
6 Ai ennyumba ya Isiraeri, nze siyinza kubakola ng'omubumbi ono? bw'ayogera Mukama. Laba, ebbumba nga bwe liri mu mukono gw'omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange, ai ennyumba ya Isiraeri.
7 Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza;
8 eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola.
9 Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, okulizimba n'okulisimba;
10 bwe lirikola obubi mu maaso gange, obutawulira ddoboozi lyange, kale ndyejjusa obulungi bwe nnayogera okukola okubagasa.
11 Kale nno gamba abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, mbateesezzaako obubi era mbasalira amagezi: mukomeewo nno buli muntu ng'ava mu kkubo lye ebbi, mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe.
12 Naye ne boogera nti Tewali ssuubi: kubanga tunaatambulanga okugoberera ebyo bye twagunja ffe, era tunaakolanga buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli.
13 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mubuuze nno mu mawanga eyali awulidde ebigambo ebyenkana awo; omuwala wa Isiraeri akoze ekigambo eky'ekivve ennyo.
14 Omuzira oguli ku Lebanooni guliggweerawo ku lwazi olw'oku ttale? amazzi amannyogovu agakulukuta agava ewala galikalira?
15 Kubanga abantu bange banneerabidde, bookerezza obubaane ebitaliimu; era babeesittazizza mu makubo gaabwe, mu makubo ag'edda, okutambulira mu mpenda, mu kkubo eritali ssende;
16 okufuula ensi yaabwe ekyewuunyo n'okusoozebwanga ennaku zonna; buli muntu anaayitangawo aneewuunyanga n'anyeenya omutwe gwe.
17 Ndibasaasaanya nga n'embuyaga eziva ebuvanjuba mu maaso g'omulabe; nditunuulira amabega gaabwe so si maaso gaabwe ku lunaku mwe balirabira obuyinike.
18 Awo ne balyoka boogera nti Mujje tumusalire Yeremiya amagezi; kubanga amateeka tegalibula awali kabona, newakubadde okuteesa awali ow'amagezi, newakubadde ekigambo awali nnabbi: Mujje tumukube n'olulimi, tuleme okussaayo omwoyo eri ebigambo bye n'ekimu.
19 Ssaayo omwoyo eri nze, ai Mukama, owulire eddoboozi ly'abo abampakanya.
20 Obubi bulisasulwa olw'obulungi? kubanga basimidde emmeeme yange obunnya. Jjukira bwe nnayimirira mu maaso go okuboogerera bo ebirungi okukyusa ekiruyi kyo kibaveeko.
21 Kale waayo abaana baabwe eri enjala, obagabule eri obuyinza obw'ekitala; bakazi baabwe bafiirwe abaana baabwe era babe bannamwandu; n'abasajja baabwe battibwe, n'abalenzi baabwe bafumitibwe n'ekitala mu lutalo.
22 Okukaaba kuwulirwe okuva mu nnyumba zaabwe, bw'olibaleetako ekibiina nga tebamanyiridde: kubanga basimye obunnya okunkwata, era bakwekedde ebigere byange ebyambika.
23 Era naye, Mukama, ggwe omanyi byonna bye bateesa okunzita; tosonyiwa bubi bwabwe, so tosangula kwonoona kwabwe mu maaso go: naye basuulibwe mi maaso go; obabonereze mu kiseera eky'obusungu bwo.