Chapter 10
1 Muwulire ekigambo Mukama ky'abagamba, mmwe ennyumba ya Isiraeri:
2 bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temuyiganga kkubo lya mawanga, so temweraliikiriranga bubonero bwa mu ggulu; kubanga amawanga gabweraliikirira.
3 Kubanga empisa ez'amawanga teziriiko kye zigasa: kubanga wabaawo omu atema omuti mu kibira, omulimu ogw'emikono gy'omukozi n'embazzi.
4 Baguyonja ne ffeeza ne zaabu; bagukomerera n'enninga n'ennyondo gulemenga okusagaasagana.
5 Bifaanana olukoma oluliko enjola so tebyogera: tebirema kusitulibwa kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga; kubanga tebiyinza kukola bubi so n'okukola obulungi tekuli mu byo.
6 Tewali afaanana ggwe, ai Mukama; ggwe mukulu, n'erinnya lyo kkulu mu buyinza.
7 Ani atandikutidde, ai Kabaka w'amawanga? kubanga kukugwanira ggwe: kubanga mu bagezigezi bonna ab'amawanga ne mu kitiibwa kyabwe kyonna ekya bakabaka temuli akufaanana ggwe.
8 Naye bo bonna wamu bali ng'ensolo, basirusiru: okuyigiriza kw'ebifaananyi kisiki busiki.
9 Waliwo ffeeza eyaweesebwa okuba ey'empewere eyaggibwa e Talusiisi, ne zaabu eyava e Yufazi, omulimu ogwa fundi, n'ogw'emikono gy'omuweesi wa zaabu; kaniki n’olugoye olw'effulungu okuba ebyambalo byabyo; byonna mulimu gwa basajja abakabakaba.
10 Naye Mukama ye Katonda yennyini ow'amazima; oyo ye Katonda omulamu, era Kabaka ataggwaawo: ensi ekankana olw'obusungu bwe, so n'amawanga tegayinza kugumiikiriza kunyiiga kwe.
11 Bwe muti bwe muba mubaganba nti Bakatonda abatakola ggulu na nsi, abo balibula mu nsi n'okuva wansi w'eggulu.
12 Yakola ensi olw'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw'amagezi ge, era yabamba eggulu olw'okutegeera kwe:
13 bw'aleeta eddooozi lye, ne waba oluyoogaano alw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa emikka okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge.
14 Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ensonyi zimukwata olw'ekifaananyi kye ekyole: kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so temuli mukka mu byo.
15 Tebiriiko kye bigasa, mulimu gwa bulimba: biribulira mu biro mwe birijjirirwa.
16 Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo; kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe: Mukama w'eggye lye linnya lye.
17 Kuŋŋaanya eby'obuguzi bwo obiggye mu nsi, ggwe atuula mu kibuga ekizingizibwa.
18 Kubanga bw’ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndivuumuula abatuula mu nsi okubaggyamu mu biro bino, era ndibasaasaanya, balumibwe.
19 Zinsanze olw'ekiwundu kyange! ekiwundu kyange kinnuma nnyo: naye ne njogera nti Mazima buno bwe buyinike bwange, era kiŋŋwanira okubugumiikiriza.
20 Eweema yange enyagiddwa, n'emigwa gyange gyonna gikutuse: abaana bange banvuddemu, so tebaliiwo: tewakyali wa kubamba weema yange, newakubadde ow'okusimba amagigi gange.
21 Kubanga abasumba bafuuse ng'ensolo, so tebabuuzizza Mukama: kyebavudde balema okulaba omukisa, n'embuzi zaabwe zonna zisaasaanye.
22 Eddoboozi ery'ekigambo kye babuulira, laba, lijja, n'okusasamala okunene okuva mu nsi ey'obukiika obwa kkono, okufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ekisulo eky'ebibe.
23 Ai Mukama, mmanyi ng'ekkubo ery'omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.
24 Ai Mukama, ombuulire, naye mpola; si lwa busungu bwo oleme okunzikiriza.
25 Fukira ddala ekiruyi kyo ku b'amawanga abatakumanyi, ne ku bika ebitakoowoola linnya lyo: kubanga balidde Yakobo, weewaawo, bamulidde, bamumazeewo, bazisizza ekifo kye mw'abeera.