Chapter 27

1 Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga, ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti
2 Bw'ati Mukama bw'aŋŋamba nti Weekolere ebisiba n'emiti egy'ekikoligo obiteeke mu bulago bwo;
3 obiweereze kabaka wa Edomu ne kabaka wa Mowaabu ne kabaka w'abaana ba Amoni ne kabaka w'e Ttuulo ne kabaka w'e Sidoni mu mukono gw'ababaka abajja e Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda;
4 obalagire ebigambo eby'okutwalira bakama baabwe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isireari nti Bwe muti bwe muligamba bakama bammwe nti
5 Nze nakola ensi, omuntu n'ensolo ebiri ku nsi, n'obuyinza bwange obungi n'omukono gwange ogugoloddwa; era nze ngiwa gwe nsiima.
6 Era kaakano mpadde ensi zino zonna mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni omuddu wange; era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko okumuweerezanga.
7 N'amawanga gonna galimuweereza ye ne mutabani we n'omwana wa mutabani we okutuusa ebiro eby'ensi ye lwe birituuka: kale amawanga mangi ne bakabaka abakulu ne balyoka bamufuula omuddu.
8 Awo olulituuka eggwanga n'obwakabaka abatalikkiriza kuweerezanga Nebukadduneeza oyo kabaka w'e Babulooni, era abatalikkiriza kuteeka nsingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni, eggwanga eryo ndiribonereza, bw'ayogera Mukama, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli okutuusa lwe ndimala okubazikiriza n'omukono gwe.
9 Naye mmwe temuwuliranga bannabbi bammwe newakubadde abafumu bammwe newakubadde ebirooto byammwe newakubadde abalogo bammwe newakubadde abasamize bammwe ababagamba nti Temuliweereza kabaka w'e Babulooni:
10 kubanga babalagula kya bulimba okubatwala ewala n'ensi yammwe; era ndyoke mbagobemu ne muzikirira.
11 Naye eggwanga eririteeka ensingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni ne limuweereza, eggwanga eryo ndirireka libeere mu nsi yaabwe bo, bw'ayogera Mukama; era baligirima ne batuula omwo.
12 Awo ne ŋŋamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali nga njogera nti Muteeke ensingo zammwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni, mumuweereze ye n'abantu be mubeere abalamu.
13 Mwagalira ki okufa, ggwe n'abantu bo, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, nga Mukama bw'ayogedde: eby'eggwanga eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babulooni?
14 So temuwuliranga bigambo bya bannabbi aboogera nammwe nti Temuliweereza kabaka w’e Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba.
15 Kubanga sibatumanga, bw'ayogera Mukama, naye balagulira mu linnya lyange obulimba; ndyoke mbagobe mu ne muzikirira, mmwe ne bannabbi ababalagula.
16 Era ne ŋŋamba ne bakabona n'abantu bano bonna nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temuwuliranga bigambo bya bannabbi bammwe ababalagula nga boogera nti Laba, ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama binaatera okukomezebwawo nate okuva mu Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba.
17 Temubawuliranga; muweereze kabaka w’e Babulooni mubeere abalamu: ekibuga kino kiki ekinaaba kikifuusa amatongo.
18 Naye oba nga bannabbi, n'ekigambo kya Mukama oba nga kiri nabo, beegayirire nno Mukama w'eggye ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme okugenda e Babulooni.
19 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mu kama w'eggye eby'empagi n'eby'ennyanja n'eby'entebe n'eby'ebintu ebifisseewo ebisigadde mu kibuga kino,
20 Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni by'ataatwala bwe yatwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'amuggya e Yerusaalemi n'amutwala e Babulooni n'abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi
21 weewaawo, bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, eby'ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti
22 Biritwalibwa e Babulooni, era biribeera eyo okutuusa ku lunaku lwe ndibajjira bw'ayogera Mukama; kale ne ndyoka mbaggyayo ne mbikomyawo mu kifo kino.