Chapter 29
1 Era bino bye bigambo eby'omu bbaluwa Yeremiya nnabbi gye yaweereza ng'ayima e Yerusaalemi eri abakadde abafisseewo ab'omu busibe n'eri bakabona n'eri bannabbi n'eri abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte nga basibe okubaggya e Yerusaalemi okubatwala e Babulooni:
2 (Yekoniya kabaka ne nnamasole n'abalaawe n'abakungu ba Yuda ne Yerusaalemi ne bafundi n'abaweesi nga bamaze okuva mu Yerusaalemi;)
3 mu mukono gwa Erasa mutabani wa Safani ne Gemaliya mutabani wa Kirukiya, (Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma e Babulooni eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni,) ng'ayogera nti
4 Bw'ati Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri bw'agamba ab'obusibe bonna be nnatwaza e Babulooni nga basibe okubaggya e Yerusaalemi, nti
5 Muzimbenga ennyumba mutuulenga omwo; musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu; muwasenga abakazi, muzaalenga abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala;
6 era muwasizenga batabani bammwe abakazi, era mugabenga abawala bammwe okufumbirwa, bazaalenga abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; mwalirenga eyo so temukendeera.
7 Mwagalizenga ekibuga emirembe gye nnabatwaza okuba abasibe, era mukisabirenga eri Mukama: kubanga olw'emirembe gyakyo mmwe muliba n'emirembe.
8 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Bannabbi bammwe abali wakati mu mmwe n'abafumu bammwe balemenga okubalimba, so temuwulirizanga birooto byammwe bye muloosa.
9 Kubanga babalagulira mu linnya lyange eby'obulimba: sibatumanga, bw'ayogera Mukama.
10 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Emyaka nsanvu bwe girituukiririra Babulooni, ndibajjira ne ntuukiriza gye muli ekigambo kyange ekirungi nga mbakomyawo mu kifo kino.
11 Kubanga mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, bw'ayogera Mukama, ebirowoozo eby'emirembe so si bya bubi, okubawa okusuubira enkomerero yammwe ey'oluvannyuma.
12 Era mulinkaabira, era muligenda ne munsaba, nange ndibawulira.
13 Era mulinnoonya ne mundaba, bwe mulinkenneenya n'omutima gwammwe gwonna.
14 Nange mulindaba, bw'ayogera Mukama, era ndikyusa nate obusibe bwammwe, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nnabagobera, bw'ayogera Mukama; era ndibakomyawo mu kifo gye nnabaggya okubatwaza okuba abasibe.
15 Kubanga mwogedde nti Mukama atuyimusirizza bannabbi mu Babulooni.
16 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebya kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi, n'eby'abantu bonna abali mu kibuga muno, baganda bammwe abatafulumanga okugenda mu busibe wamu nammwe;
17 bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndisindika ku bo ekitala n'enjala ne kawumpuli, era ndibafuula ng'ettiini ezitaliiko kye zigasa ezitaliika kubanga ziyinze obubi
18 Era ndibayigganya n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, era ndibawaayo okuyuuguumizibwa mu nsi zonna eza bakabaka eziri ku nsi, okuba ekikolimo n'ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'ekivume mu mawanga gonna gye nnabagobera:
19 kubanga tebawulirizza bigambo byange, bw'ayogera Mukama, bye nnatuma abaddu bange bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma; naye ne mutakkiriza kuwulira, bw'ayogera Mukama.
20 Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna ab'omu busibe, be nnasindika e Babulooni okuva e Yerusaalemi.
21 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri ebya Akabu mutabani wa Kolaya n'ebya Zeddekiya mutabani wa Maaseya ababalagulira mu linnya lyange eky'obulimba, nti Laba, ndibagabula mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni; era alibatta mmwe nga mulaba;
22 era ku bo kwe baliggya ekikolimo abasibe bonna aba Yuda abali mu Babulooni nga boogera nti Mukama akufuule nga Zeddekiya era nga Akabu kabaka w'e Babulooni be yayokya omuliro:
23 kubanga bakoze eby'obusirusiru mu Isiraeri, era benze ku bakazi ba bannaabwe, era boogeredde mu linnya lyange ebigambo eby'obulimba bye sibalagiranga; era nze nzuuno amanyi, era nze ndi mujulirwa, bw'ayogera Mukama.
24 N'ebya Semaaya Omunekeramu onooyogera nti
25 Bw'ati bw'agamba Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Kubanga oweerezza ebbaluwa ng'oyima mu linnya lyo ggwe eri abantu bonna abali mu Yerusaalemi n'eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona n'eri bakabona bonna ng'oyogera nti
26 Mukama akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada kabona mubeere abaami mu nnyumba ya Mukama, olwa buli muntu aliko eddalu ne yeefuula nnabbi, omuteeke mu nvuba ne mu masamba.
27 Kale nno ekikulobedde ki okunenya Yeremiya ow'e Yanasosi eyeefuula nnabbi gye muli,
28 kubanga yatutumira e Babulooni ng'ayogera nti Obusibe bwa kulwawo: muzimbenga ennyumba, mutuulenga omwo; era musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu?
29 Awo Zeffaniya kabona n'asomera ebbaluwa eno mu matu ga Yeremiya nnabbi.
30 Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera
31 nti Tumira abo bonna abali mu busibe ng'oyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama ebya Semaaya Omunekeramu nti Kubanga Semaaya abalagudde, so nze simutumanga, era abeesigisizza eky'obulimba;
32 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibonereza Semaaya Omunekeramu n'ezzadde lye; taliba na musajja wa kutuula mu bantu bano, so taliraba birungi bye ndikola abantu bange, bw'ayogera Mukama: kubanga ayogedde eby'obujeemu eri Mukama.