Chapter 26
1 Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyajje alye obwakabaka ekigambo kino ne kijja okuva eri Mukama nga kyogera nti
2 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Yimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, ogambe ebibuga byonna ebya Yuda, abajja okusinziza mu nnyumba ya Mukama, ebigambo byonna bye nkulagira okubagamba; tolekaayo na kimu.
3 Mpozzi baliwulira ne bakyuka buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nejjuse obubi bwe nteesa okubakola olw'obubi obw'ebikolwa byabwe.
4 Era obagambanga nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe mutampulirize okutambuliranga mu mateeka gange ge ntadde mu maaso gammwe,
5 okuwulirizanga ebigambo by'abaddu bange bannabbi be mbatumira, okugolokoka nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, naye mmwe ne mutawuliriza;
6 kale ndifuula ennyumba eno okuba nga Siiro, era ndifuula ekibuga kino ekikolimo eri amawanga gonna ag'omu nsi.
7 Awo bakabona ne bannabbi n'abantu bonna ne bawulira Yeremiya ng'ayogerera ebigambo ebyo mu nnyumba ya Mukama.
8 Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera byonna Mukama bye yali amulagidde okugamba abantu bonna, bakabona ne bannabbi n'abantu bonna ne bamukwata nga boogera nti Tooleme kufa.
9 Kiki ekikulaguzizza mu linnya lya Mukama ng'oyogera nti Ennyumba eno eriba nga Siiro n'ekibuga kino kiriba matongo nga tewali muntu akibeeramu? Abantu bonna ne bakuŋŋaanira awali Yeremiya mu nnyumba ya Mukama.
10 Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebyo, ne bambuka nga bava mu nnyumba ya kabaka, ne bajja mu nnyumba ya Mukama; ne batuula awayingirirwa mu mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama.
11 Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n'abantu bonna nti Omusajja ono asaanidde okufa; kubanga alagudde ku kibuga kino nga bwe muwulidde n'amatu gammwe mmwe.
12 Awo Yeremiya n'agamba abakungu bonna n'abantu bonna nti Mukama ye yantuma okulagula ku nnyumba eno ne ku kibuga kino ebigambo byonna bye muwulidde.
13 Kale nno mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, mugondere eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe; kale Mukama alyejjusa obubi bw'aboogeddeko.
14 Naye nze, laba, ndi mu mukono gwammwe: munkole nga bwe musiima era bwe kiri eky'ensonga mu maaso gammwe.
15 Kyokka mutegeerere ddala bwe munanzita muneereetako omusaayi ogutaliiko musango ne ku kibuga kino ne ku abo abakibeeramu: kubanga mazima Mukama ye antumye gye muli okwogera ebigambo bino byonna mu matu gammwe.
16 Awo abakungu n'abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti Omusajja ono tasaanidde kufa; kubanga ayogeredde naffe mu linnya lya Mukama Katonda waffe.
17 Awo ne wagolokoka abamu ku bakadde b'ensi ne bagamba ekibiina kyonna eky'abantu nti
18 Mikaaya Omumolasi yalagulira mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda; n'agamba abantu bonna aba Yuda ng'ayogera ati Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Sayuuni lulikabalwa ng'ennimiro ne Yerusaalemi kirifuuka bifunvu, n'olusozi olw'ennyumba luliba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira.
19 Keezeekiya kabaka wa Yuda ne Yuda yenna baamala ne bamutta? teyatya Mukama, ne yeegayirira ekisa kya Mukama, Mukama ne yejjusa obubi bwe yali aboogeddeko? Bwe tutyo twandyonoonye nnyo emmeeme zaffe ffe.
20 Era waaliwo omusajja eyalagulira mu linnya lya Mukama, Uliya mutabani wa Semaaya ow'e Kiriyasuyalimu; n'oyo yalagula ku kibuga kino ne ku nsi eno ng'ebigambo byonna ebya Yeremiya bwe bibadde:
21 awo Yekoyakimu kabaka n'abasajja be bonna ab'amaanyi n'abakungu bonna bwe baawulira ebigambo bye, kabaka n'ayagala okumutta; naye Uliya bwe yakiwulira, n'atya n'adduka n'agenda mu Misiri:
22 Yekoyakimu kabaka n'atuma abantu e Misiri, Erunasani mutabani wa Akubooli, n'abasajja abamu wamu naye e Misiri:
23 ne bakimayo Uliya mu Misiri, ne bamuleeta eri Yekoyakimu kabaka; n'amutta n'ekitala, n'asuula omulambo gwe mu malaalo g'abakopi.
24 Naye omukono gwa Akikamu mutabani wa Safani ne guba wamu ne Yeremiya baleme okumuwaayo mu mukono gw'abantu okumutta.