Chapter 36
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ekigambo kino ne kijjira Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti
2 Ddira omuzingo gw'ekitabo, owandiike omwo ebigambo byonna bye nnakubuuliranga eri Isiraeri n'eri Yuda n'eri amawanga gonna, okuva ku lunaku lwe nnayogera naawe, okuva ku mirembe gya Yosiya, ne leero.
3 Mpozzi ennyumba ya Yuda baliwulira obubi bwonna bwe nteesa okubakola; era badde buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nsonyiwe obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe.
4 Awo Yeremiya n'ayita Baluki mutabani wa Neriya; Baluki n'awandiika ku muzingo gw'ekitabo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya ebigambo byonna ebya Mukama bye yali amubuulidde.
5 Awo Yeremiya n'alagira Baluki ng'ayogera nti Nsibiddwa; siyinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama:
6 kale genda ggwe osome mu muzingo gw'owandiise ng'oggya mu kamwa kange ebigambo bya Mukama, mu matu g'abantu mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw'okusiibirako: era obisomanga ne mu matu g'aba Yuda bonna abava mu bibuga byabwe.
7 Mpozzi balireeta okwegayirira kwabwe mu maaso ga Mukama, ne badda buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi: kubanga obusungu n'ekiruyi Mukama by'ayogedde eri abantu bano binene.
8 Awo Baluki mutabani wa Neriya n'akola nga byonna bwe byali Yeremiya nnabbi bye yamulagira, ng'asoma mu kitabo ebigambo bya Mukama mu nnyumba ya Mukama.
9 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'omwenda, abantu bonna abaali mu Yerusaalemi n'abantu bonna abaava mu bibuga bya Yuda ne bajja e Yerusaalemi ne balangira okusiiba mu maaso ga Mukama.
10 Awo Baluki n'asoma mu kitabo ebigambo bya Yeremiya mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Safani omuwandiisi, mu luggya olw'engulu awayingirirwa mu mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama, mu matu g'abantu bonna.
11 Awo Mikaaya mutabani wa Gemaliya mutabani wa Safani bwe yawulira mu kitabo ebigambo byonna ebya Mukama,
12 n'aserengeta mu nnyumba ya kabaka mu kisenge eky'omuwandiisi: kale, laba, abakungu bonna nga batudde omwo, Erisaama omuwandiisi ne Deraya mutabani wa Semaaya ne Erunasani mutabani wa Akubooli ne Gemaliya mutabani wa Safani ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya n'abakungu bonna.
13 Awo Mikaaya n'alyoka ababuulira ebigambo byonna bye yali awulidde, Baluki bw'asomye ekitabo mu matu g'abantu.
14 Abakungu bonna kyebaava batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki nga boogera nti Ddira omuzingo gw'ekitabo mw'osomye mu matu g'abantu mu mukono gwo, ojje. Awo Baluki mutabani wa Neriya n'addira omuzingo mu mukono gwe n'ajja gye baali.
15 Ne bamugamba nti Tuula nno obisome mu matu gaffe. Kale Baluki n'abisoma mu matu gaabwe.
16 Awo olwatuuka bwe baamala okuwulira ebigambo byonna, ne batunulaganako nga batya, ne bagamba Baluki nti Tetuuleme kubuulira kabaka ebigambo ebyo byonna.
17 Ne babuuza Baluki nga boogera nti Tubuulire nno, wawandiika otya ebigambo ebyo byonna ng'oggya mu kamwa ke?
18 Awo Baluki n'abaddamu nti Ye yambuulira ebigambo ebyo byonna n'akamwa ke, nange ne mbiwandiika ne buyino.
19 Awo abakungu ne bagamba Baluki nti Genda weekweke, ggwe ne Yeremiya; so omuntu yenna aleme okumanya gye muli.
20 Awo ne bayingira eri kabaka mu luggya; naye nga bamaze okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi; ne babuulira ebigambo byonna mu matu ga kabaka.
21 Awo kabaka n'atuma Yekudi okukima omuzingo: n'aguggya mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi. Awo Yekudi n'agusoma mu matu ga kabaka ne mu matu g'abakungu bonna abaayimirira okuliraana kabaka.
22 Awo kabaka yali atudde mu nnyumba ey'ebiro by'obutiti mu mwezi ogw'omwenda: era omuliro nga guli mu lubumbiro nga gwaka mu maaso ge.
23 Awo olwatuuka Yekudi bwe yamala okusoma empapula ssatu oba nnya, kabaka n'agusala n'akambe ak'omuwandiisi n'agusuula mu muliro ogwali mu lubumbiro, omuzingo ne guggiira mu muliro ogwali mu lubumbiro.
24 So tebaatya so tebaayuza byambalo byabwe, kabaka newakubadde abaddu be n'omu abaawulira ebigambo ebyo byonna.
25 Era nate Erunasani ne Deraya ne Gemaliya baali bamwegayiridde kabaka obutayokya muzingo; naye n'atakkiriza kubawulira.
26 Awo kabaka n'alagira Yerameeri omwana wa kabaka ne Seraya mutabani wa Azuliyeeri ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne Yeremiya nnabbi: naye Mukama n'abakweka.
27 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, kabaka ng'amaze okwokya omuzingo n'ebigambo Baluki bye yawandiika ng'abiggya mu kamwa ka Yeremiya, nga kyogera nti
28 Ddira nate omuzingo omulala, owandiike omwo ebigambo byonna ebyasooka ebyali mu muzingo ogw'olubereberye Yekoyakimu kabaka wa Yuda gw'ayokezza.
29 Era ebya Yekoyakimu kabaka wa Yuda olyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oyokezza omuzingo guno ng'oyogera nti Kiki ekikuwandiisizza omwo ng'oyogera nti Kabaka w'e Babulooni talirema kujja n'azikiriza ensi eno, era alimalawo omwo omuntu n'ensolo?
30 Mukama kyava ayogera bw'ati ebya Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti Taliba na wa kutuula ku ntebe ya Dawudi n'omu: n'omulambo gwe gulisuulibwa eri olubugumu emisana n'eri empewo ekiro.
31 Era ndimubonereza n'ezzadde lye n'abaddu be olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndibaleetako ne ku abo abali mu Yerusaalemi ne ku basajja ba Yuda obubi bwonna bwe nnaakaboogerako, naye ne batawulira.
32 Awo Yeremiya n'addira omuzingo ogw'okubiri, n'agumuwa Baluki omuwandiisi mutabani wa Neriya; ye n'awandiika omwo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya ebigambo byonna eby'omu kitabo Yekoyakimu kabaka wa Yuda kye yayokya mu muliro: era ne byongerwako ebigambo bingi ebibifaanana.