Chapter 39
1 Awo olwatuuka Yerusaalemi bwe kyamenyebwa, (mu mwaka ogw'omwenda ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni mwe yajjira n'eggye lye lyonna okutabaala Yerusaalemi n'akizingiza;
2 mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Zeddekiya mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwezi olw'omwenda mwe baawagulira ekituli mu kibuga:)
3 abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bayingira ne batuula mu mulyango ogwa wakati, Nerugalusalezeeri, Samugaluneebo, Salusekimu, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, wamu n'abakungu bonna abalala aba kabaka w'e Babulooni.
4 Awo olwatuuka Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abasajja bonna abalwanyi bwe baabalaba, kale ne badduka ne bava mu kibuga kiro mu kkubo ery'olusuku lwa kabaka, mu mulyango oguli wakati wa babbugwe ababiri: n'afuluma mu kkubo erya Alaba.
5 Naye eggye ery'Abakaludaaya ne libagoberera ne bayisiriza Zeddekiya mu nsenyi ez'e Yeriko: awo bwe baamala okumuwamba, ne bamuleeta eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi, n'amusalira omusango.
6 Awo kabaka w'e Babulooni n'attira batabani ba Zeddekiya e Libula ye ng'alaba: era kabaka w’e Babulooni n'atta n'abakungu bonna aba Yuda.
7 Era n'aggyamu Zeddekiya amaaso, n'amusiba n'amasamba okumutwala e Babulooni.
8 Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n'ennyumba ez'abantu omuliro, ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi.
9 Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala e Babulooni nga basibe abantu abafisseewo abaali basigadde mu kibuga, era n'abasenze abaamusenga, n'abantu abafisseewo abaali basigaddewo.
10 Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka ku baavu ab'omu bantu abaali batalina kintu mu nsi ya Yuda, n'abawa ensuku ez'emizabbibu n'ennimiro mu biro ebyo.
11 Awo Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni n'alagira Nebuzaladaani omukulu w'abambowa ebya Yeremiya ng'ayogera nti
12 Mutwale omukuume nnyo, so tomukola kabi; naye omukolanga era nga ye bw'anaakugambanga.
13 Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atuma, ne Nebusazubaani, Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, Labumagi, n'abaami bonna abakulu aba kabaka w'e Babulooni;
14 ne batuma ne baggya Yeremiya mu luggya olw'abambowa ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani amutwale eka: awo n'abeera mu bantu.
15 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya bwe yali ng'asibiddwa mu luggya olw'abambowa; nga kyogera nti
16 Genda ogambe Ebedumereki Omuwesiyopya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isirarei nti Laba; ndireeta ebigambo byange ku kibuga kino olw'obubi so si lwa bulungi; era birituukirizibwa mu maaso go ku lunaku luli.
17 Naye ndikuwonyeza ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama: so toliweebwayo mu mukono gw'abasajja b'otya.
18 Kubanga Sirirema kukulokola so toligwa n'ekitala, naye obulamu bwo buliba munyago gy'oli: kubanga weesize nze, bw'ayogera Mukama.