Chapter 4
1 Bw'onokkiriza okukomawo, ggwe Isiraeri, bw'ayogera Mukama, eri nze gy'olidda: era bw'onoggyawo emizizo gyo mu maaso gange, kale tolijjulukuka;
2 awo olirayiranga nti Mukama nga bw'ali omulamu mu mazima ne mu musango ne mu butuukirivu; n'amawanga ganeesabiranga omukisa mu ye, era mu ye mwe baneenyumiririzanga.
3 Kubanga bw'atyo Mukama bw'agamba abasajja ba Yuda ne Yerusaalemi nti Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, so temusiganga mu maggwa.
4 Mwekomole eri Mukama, muggyewo ebikuta eby'emitima gyammwe, mmwe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi: ekiruyi kyange kireme okufuluma ng'omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.
5 Mulangirire mu Yuda, mulaalike mu Yerusaalemi; mwogere nti Mufuuwe ekkondeere mu nsi; mwogerere waggulu mwogere nti Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera.
6 Musimbe ebendera okwolekera Sayuuni: mudduke muwone, temulwawo: kubanga ndireeta obubi obuliva obukiika obwa kkono n'okuzikiriza okunene.
7 Empologoma erinnye okuva mu kisaka kyayo, era omuzikiriza w'amawanga; akutte ekkubo, avudde mu kifo kye; okuzisa ensi yo, ebibuga byo babizise obutabaamu abibeeramu.
8 Olwekyo mwambale ebibukutu, mukungubage muwowoggane: kubanga ekiruyi kya Mukama tekikyuse okutuvaako.
9 Awo olutituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, omutima gwa kabaka gulizikirira, n'omutima gw'abakulu; ne bakabona balisamaalirira ne bannabbi balyewuunya.
10 Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! mazima olimbye nnyo eggwanga lino ne Yerusaalemi ng'oyogera nti Muliba n'emirembe; naye ekitala kituuka ku mmeeme.
11 Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino ne Yerusaalemi nti Embuyaga ez'olubugumu eziva ku nsozi ez'obweru mu ddungu ezoolekera omuwala w'abantu bange, si za kuwujja so si za kulongoosa;
12 embuyaga nnyingi eziva ku ezo zirijja ku lwange: kaakano nange naayogera emisango ku bo.
13 Laba, alirinnya ng'ebire, n'amagaali ge galiba ng'empewo ez'akazimu: embalaasi ze za mbiro okukira empungu. Zitusanze! kubanga tunyagiddwa.
14 Ai Yerusaalemi, naaza omutima gwo guggweemu obubi, olyoke olokoke. Ebirowoozo byo ebibi birituusa wa okubeera mu nda yo?
15 Kubanga eddoboozi lirangirira nga liyima e Ddaani, era liraalika obubi nga liyima ku nsozi za Efulayimu:
16 mubuulire amawanga; laba, mulaalike eri Yerusaalemi ng'abakuumi bava mu nsi ey'ewala ne balangirira ebibuga bya Yuda n'eddoboozi lyabwe.
17 Bakyetoolodde enjuyi zonna ng'abakuuma ennimiro; kubanga kyanjeemera, bw'ayogera Mukama.
18 Ekkubo lyo n'ebikolwa byo bye bikufunidde ebyo; buno bwe bubi bwo; kubanga bwa bubalagaze, kubanga butuuka ne ku mutima gwo.
19 Emmeeme yange, emmeeme yange! omutima gwange gunnuma munda mwennyini; omutima gwange gweraliikiridde mu nze; siyinza kusirika; kubanga owulidde, ai emmeeme yange, eddoboozi ly'ekkondeere, nga liraye.
20 Okuzikirizibwa okuli kungulu w'okuzikirizibwa kulangirirwa; kubanga ensi yonna enyagiddwa: eweema zange zinyagiddwa nga simanyiridde, n'amagigi gange mu kaseera kamu.
21 Ndituusa wa okulaba ebendera ne mpulira eddoboozi ly'ekkondeere?
22 Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi; biwowongole bya baana, so tebalina kutegeera: ba magezi mu kukola obubi, naye mu kukola obulungi tebalina kumanya.
23 Nalaba ensi, era, laba, nga njereere nga yeetabuddetabudde; n'eggulu nga temuli musana.
24 Nalaba ensozi, era, laba, nga zikankana, obusozi bwonna ne buyuuguuma eruuyi n'eruuyi.
25 Natunula, era, laba, nga tewali muntu, n'ennyonyi zonna ez'omu bbanga nga zidduse.
26 Natunula, era, laba, ennimiro eŋŋimu nga zifuuse nkoola, n'ebibuga byamu byonna nga bimenyesemenyese, olw'okujja kwa Mukama ne mu maaso g'ekiruyi kye.
27 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ensi yonna eriba nsiko; naye sirikomekkerereza ddala.
28 Ensi kyeriva ewuubaala, n'eggulu eriri waggulu liriddugala: kubanga nze nkyogedde, nkimaliridde, so sejjusizza, so siridda nnyuma okukireka.
29 Ekibuga kyonna kidduka olw'okuyoogaana kw'abo abeebagadde embalaasi n'ab'emitego; bayingira mu bisaka, ne balinnya ku mayinja buli kibuga kirekeddwa, so tewali muntu atuula omwo.
30 Naawe bw'olinyagibwa olikola otya? Newakubadde ng'oyambala olugoye olutwakaavu, newakubadde nga weeyonja n'ebintu ebya zaabu, newakubadde ng'ogaziya amaaso go nga weesiigako eddagala, weefuulira bwereere omulungi: baganzi bo bakunyooma, banoonya obulamu bwo.
31 Kubanga mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, obubalagaze obuli ng'obwoyo azaala omwana we omubereberye, eddoboozi ly'omuwala wa Sayuuni alaakiira, ayanjala engalo ze ng'ayogera nti Zinsanze kaakano! kubanga emmeeme yange ezirika mu maaso g'abassi.