Chapter 51

1 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta ku Babulooni ne ku abo abali mu Lebukamaayi embuyaga ezizikiriza.
2 Era nditumira Babulooni bannaggwanga balikiwujja; n'ensi yaakyo baligimalamu byonna: kubanga balikirumbira enjuyi zonna ku lunaku lw'okulabiramu ennaku.
3 Omulasi aleme okunaanuula omutego gwe, so aleme okweyimusa ng'ayambadde ekizibawo kye eky'ebyuma; so temusonyiwa balenzi baamu; muzikiririze ddala eggye lyamu lyonna.
4 Era baligwira mu nsi ey'Abakaludaaya nga battiddwa, era nga bafumitiddwa mu nguudo zaakyo.
5 Kubanga Isiraeri talekeddwayo Katonda we, Mukama w'eggye, newakubadde Yuda; ensi yaabwe ng'ejjudde omusango gwe bazza eri omutukuvu wa Isiraeri.
6 Mudduke muve mu Babulooni wakati, muwonye buli muntu obulamu bwe; temuzikirizibwa mu butali butuukirivu bwakyo: kubanga bye biro Mukama mw'awalanira eggwanga; likisasula empeera.
7 Babulooni kyabanga kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama, ekyatamiiza ensi zonna: amawanga ganywedde ku mwenge gwakyo; amawanga kyegavudde galaluka.
8 Babulooni kigudde mangu ago, era kizikiridde: mukiwowogganire; muddire eddagala olw'obulumi bwakyo, oba nga mpozzi kinaayinzika okuwonyezebwa.
9 Twandiwonyezza Babulooni, naye tekiwonye: mukireke, tudde buli muntu mu nsi y'ewaabwe ye; kubanga omusango gwakyo gutuuse mu ggulu, era gugulumizibwa okutuuka ne mu bbanga.
10 Mukama ayolesezza obutuukirivu bwaffe: mujje tubuulire mu Sayuuni omulimu gwa Mukama Katonda waffe.
11 Muzigule obusaale, munyweze engabo: Mukama akubirizza omwoyo gwa bakabaka b'Abameedi; kubanga okuteesa kwe kuli eri Babulooni okukizikiriza: kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana, ly'awalana olwa yeekaalu ye.
12 Musimbe ebendera okwolekera bbugwe w'e Babulooni, munyweze abakuumi, muteekeewo abakuuma, mutegeke abateezi: kubanga Mukama ateesezza n'okukola akoze ebyo bye yayogera ku abo abali mu Babulooni.
13 Ai ggwe atuula ku mazzi amangi, alina eby'obugagga ebingi ennyo nnyini, enkomerero yo etuuse, ekigera ky'omululu gwo.
14 Mukama w'eggye yeerayidde yekka ng'ayogera nti Mazima ndikujjuza abasajja nga bulusejjera; era balikukuba olwogoolo.
15 Yakola ensi n'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna n'amagezi ge, era yabamba eggulu n'okutegeera kwe:
16 bw'aleeta eddoboozi lye, wabaawo oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa emikka okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge.
17 Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ekifaananyi kye ekyole kimukwasa ensonyi: kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so mu byo temuli mukka,
18 Birerya, mulimu gwa bulimba: mu biro mwe birijjirirwa birizikirira.
19 Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo: kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe: Mukama w'eggye lye linnya lye.
20 Ggwe mbazzi yange erwana, era eby'okulwanyisa byange: era ggwe ndimenyesamenyesa amawanga; era ggwe ndizikirizisa obwakabaka;
21 era ggwe ndimenyesamenyesa embalaasi n'oyo agyebagadde;
22 era ggwe ndimenyesamenyesa ekigaali n'oyo akitambuliramu; era ggwe ndimenyesamenyesa omusajja n'omukazi; era ggwe ndimenyesamenyesa omukadde n'omulenzi; era ggwe ndimenyesamenyesa omulenzi n'omuwala;
23 era ggwe ndimenyesamenyesa omusumba n'ekisibo kye; era ggwe ndimenyesamenyesa omulimi n'omugogo gwe ogw'ente; era ggwe ndimenyesamenyesa abafuga n'abasigire.
24 Era ndisasula Babulooni n'abo bonna abali mu Bukaludaaya obubi bwabwe bwonna bwe baakakola mu Sayuuni mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama:
25 Laba, ndi mulabe wo, ai olusozi oluzikiriza, bw'ayogera Mukama, oluzikiriza ensi zonna: era ndikugololerako omukono gwange, ne nkuyiringisa okuva ku mayinja, era ndikufuula olusozi olwaggya.
26 So tebalikuggyako jjinja okuba ensonda, newakubadde ejjinja ery'emisingi; naye onoobanga matongo emirembe gyonna, bw'ayogera Mukama.
27 Musimbe ebendera mu nsi, mufuuwe ekkondeere mu mawanga, mutegeke amawanga okulwana nakyo, muyite obwakabaka obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi, okukikuŋŋaanirako: mukigabire omugabe; mulinnyise embalaasi ng'obuwuka obuliko obwoya.
28 Mutegeke amawanga okulwana nakyo, bakabaka b'Abameedi, abaamasaza baamu, n'abasigire bonna abaamu, n'ensi yonna gy'atwala.
29 Era ensi ekankana, erumwa: kubanga ebyo Mukama bye yamalirira eri Babulooni binywera, okufuula ensi y'e Babulooni amatongo, nga tewali abeeramu.
30 Abasajja ab'amaanyi ab'e Babulooni baleseeyo okulwana, basigadde mu bifo byabwe eby'amaanyi; amaanyi gaabwe gaweddewo; bafuuse ng'abakazi: ennyumba zaakyo zookeddwa; ebisiba byakyo bimenyese.
31 Matalisi omu aliddukana okusisinkana ne munne, n'omubaka omu okusisinkana ne munne, okunnyonnyola kabaka w'e Babulooni ng'ekibuga kye kimenyeddwa enjuyi zonna:
32 era basoonookerezza amawungukiro n'endago bazookezza omuliro, n'abasajja abalwanyi batidde.
33 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Omuwala wa Babulooni aliŋŋanga egguuliro mu biro lwe balisambiramu; ekyasigaddeyo ekiseera kitono ebiro eby'okukunguliramu birikituukira.
34 Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni andidde, ambetense, anfudde ekibya ekyereere, ammize ng'ogusota, ajjuzizza olubuto lwe eby'okuliira byange ebirungi; ansudde.
35 Ekyejo ekyagirirwa nze n'omubiri gwange kibeere ku Babulooni, ali mu Sayuuni bw'alyogera; era Omusaayi gwange gubeere ku abo abali mu Bakaludaaya, Yerusaalemi bw'alyogera.
36 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwoza ensonga yo, ne nkuwalanira eggwanga: era ndikaliza ennyanja yaakyo, era ndimalawo ensulo yaakyo.
37 Kale Babulooni kirifuuka bifunvu, ekifo eky'ebibe eky'okubeeramu, ekyewuunyo, n'okusoozebwa, nga tewali akibeeramu.
38 Baliwulugumira wamu ng'empologoma ento; balivuumira wamu ng'abaana b'empologoma.
39 Bwe balibuguumirira, lwe ndifumba embaga yaabwe, era ndibatamiiza, basanyuke, era beebake otulo otutaliggwaawo, so baleme okuzuukuka, bw'ayogera Mukama.
40 Ndibaserengesa ng'abaana b'endiga okuttibwa, ng'endiga ennume wamu n'embuzi emmandwa.
41 Sesaki nga kimenyeddwa! n'ettendo ery'ensi zonna nga balisonookerezza! Babulooni nga kifuuse amatongo mu mawanga!
42 Ennyanja erinnye ku Babulooni: olufulube lw'amayengo gaayo lukibisseeko.
43 Ebibuga byakyo bifuuse matongo, ensi enkalu n'eddungu, ensi omutali muntu so tewali mwana wa muntu ayitawo.
44 Era ndireeta omusango ku Beri mu Babulooni, era ndiggya mu kamwa ke ekyo kye yamira; so n'amawanga nga tegakyakulukutira wamu gy'a1i nate: weewaawo, bbugwe w'e Babulooni aligwa.
45 Mmwe abantu bange, muve wakati mu kyo, mwerokole buli muntu ekiruyi kya Mukama.
46 So n'omutima gwammwe guleme okuzirika, so temutyanga olw'ekigambo ekiriwulirwa mu nsi; kubanga ekigambo kirijjira mu mwaka gumu, era oluvannyuma mu mwaka omulala ekigambo kirijja n'ekyejo mu nsi, owessaza ng'alwana n'owessaza.
47 Kale, laba, ennaku zijja lwe ndireeta omusango ku bifaananyi ebyole ebya Babulooni, n'ensi yaayo yonna erikwatibwa ensonyi; n'abaayo bonna abattiddwa baligwira wakati mu kyo.
48 Kale eggulu n'ensi ne byonna ebibirimu biriyimba n'essanyu olwa Babulooni; kubanga abanyazi balijja gye kiri okuva obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama.
49 Nga Babulooni bwe kyagwisa aba Isiraeri abattibwa, bwe batyo e Babulooni ab'ensi yonna abattiddwa gye baligwira.
50 Mmwe abawonye ekitala, mugende, temuyimirira buyimirizi; mujjukire Mukama nga muyima wala, era Yerusaalemi kiyingire mu mwoyo gwammwe.
51 Tukwatiddwa ensonyi, kubanga tuwulidde ebivume; amaaso gaffe gaswadde: kubanga bannaggwanga bayingidde mu bifo ebitukuvu eby'omu nnyumba ya Mukama.
52 Kale, laba, ennnaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndireeta omusango ku bifaananyi byakyo ebyole; ne mu nsi yaakyo yonna abaliko ebiwundu balisinda.
53 Babulooni newakubadde nga kirinnye okutuusa mu ggulu, era newakubadde nga kinywezezza entikko ey'amaanyi gaakyo, era naye abanyazi balijja gye kiri okuva we ndi, bw'ayogera Mukama.
54 Eddoboozi ery'okukaaba erivudde mu Babulooni n'ery'okuzikirira okunene erivudde mu nsi ey'Abakaludaaya!
55 kubanga Mukama anyaga Babulooni, era azikirizza oluyoogaano olunene okuva mu kyo; n'amayengo gaabwe gawuuma ng'amazzi amangi, era baleeta okuyoogaana kw'eddoboozi lyabwe:
56 kubanga omunyazi akituuseeko, ku Babulooni, n'abasajja baamu ab'amaanyi bawambiddwa, emitego gyabwe gimenyesemenyese: kubanga Mukama ye Katonda asasula, talirema kuwa mpeera.
57 Era nditaamiiza abakungu baamu n'abagezigezi baamu, abaamasaza baamu n'abasigire baamu n'abasajja baamu ab'amaanyi; era balyebaka otulo otutaliggwaawo so tebalizuukuka, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye.
58 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Babbugwe abagazi b'e Babulooni balisuulirwa ddala, n'emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro; n'amawanga galiteganira obutaliimu, n'ebika biriteganira omuliro; era balikoowa.
59 Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yalagira Seraya mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni wamu ne Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwaka ogw'okufuga kwe ogw'okuma. Era Seraya yali ssaabakaaki omukulu.
60 Awo Yeremiya n'awandiika mu kitabo obubi bwonna obwali bugenda okujja ku Babulooni, bye bigambo ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku Babulooni.
61 Awo Yeremiya n'agamba Seraya nti Bw'olituuka mu Babulooni, kale tolemanga kusoma, ebigambo bino byonna,
62 oyogere nti Ai Mukama, wayogera eby'ekifo kino okukizikiriza omuntu yenna aleme okutuula omwo, omuntu newakubadde ensolo, naye kirekebwewo ennaku zonna.
63 Awo olulituuka bw'olimala okusoma ekitabo kino, n'olyoka okisibako ejjinja n'okisuula mu Fulaati wakati:
64 era olyogera nti Babulooni bwe kirikka bwe kityo, so tekiribbulukuka nate, olw'obubi bwe ndikireetako: era balikoowa. Ebigambo bya Yeremiya we bikoma wano.