Chapter 14
1 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya ekyayogera ku kyanda bwe kiri.
2 Yuda awuubaala, n'enzigi zaayo ziyongobera, batuula ku ttaka nga bambadde ebiddugala; n'okukaaba kwa Yerusaalemi kulinnye.
3 N'abakungu baabwe batuma abaana baabwe abato emugga: batuuka ku binnya, ne batasangamu mazzi; baddayo ensuwa zaabwe nga njereere: ensonyi zibakwata, baswala, babikka ku mitwe gyabwe.
4 Olw'ettaka eryatise, kubanga enkuba tetonnyanga mu nsi, abalimi kyebava bakwatibwa ensonyi, babikka ku mitwe gyabwe.
5 Weewaawo, n'empeewo eri ku ttale ezaala, n'ereka omwana gwayo olw'obutabaawo muddo.
6 N'entulege ziyimirira ku nsozi ez'obweru, ziwejjerawejjera empewo ng'ebibe; amaaso gaazo gaziba olw'obutabaawo bimera.
7 Obutali butuukirivu bwaffe newakubadde nga butulumiriza, kola omulimu olw'erinnya lyo, ai Mukama: kubanga okudda kwaffe ennyuma kungi; twakwonoona.
8 Ai, ggwe essuubi lya Isiraeri, amulokolera mu biro eby'okulabiramu ennaku, wandibeeredde ki ng'omuyise mu nsi, era ng'omutambuze akyama okukeesa obudde?
9 Wandibeeredde ki ng'omuntu asamaaliridde, ng'omusajja ow'amaanyi atayinza kulokola? era naye ggwe, ai Mukama, oli wakati mu ffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka.
10 Bw'ati Mukama bw'agamba abantu bano nti Bwe batyo bwe baayagalanga okuwaba; tebaziyizanga bigere byabwe: Mukama kyava alema okubakkiriza; kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonereza ebibi byabwe.
11 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Tosabira bantu bano baweebwe ebirungi.
12 Bwe banaasiibanga, siiwulirenga kukaaba kwabwe; era bwe banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebitone, siibakkirizenga: naye ndibazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.
13 Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi babagamba nti Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye ndibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.
14 Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti Bannabi balagulira eby’obulimba mu linnya lyange: saabalagira so saayogera nabo: babalagula okwolesebwa okw'obulimba n'obulaguzi n'ekigambo ekitaliimu n'obukuusa obw'omu mutima gwabwe bo.
15 Mukama kyava ayogera bw'ati ebya bannabbi abalagulira mu linnya lyange so saabatuma, naye ne boogera nti Ekitala n'enjala tebiriba mu nsi eno: nti Ekitala n'enjala bye birizikiza bannabbi abo.
16 N'abantu be balagula balisuulibwa mu nguudo ez'e Yerusaslemi olw'enjala n'ekitala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe newakubadde batabani baabwe newakubadde bawala baabwe: kubanga ndifuka ku bo obubi bwabwe.
17 Era olibagamba ekigambo kino nti Amaaso gange gakulukute amaziga emisana n'ekiro so galeme okulekayo; kubanga omuwala w'abantu bange atamanyi musajja awaguddwamu ekituli kinene, ekiwundu kibi nnyo nnyini.
18 Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n'ekitala era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw'enjala kubanga nnabbi era ne kabona batambulira mu nsi so tebalina kumanya.
19 Ogaanidde ddala Yuda? emmeeme yo etamiddwa Sayuuni? otufumitidde ki, so tewali ddagala lya kutuwonya? Twasuubiranga emirembe, naye ne wataba birungi ebyajjanga; n'ebiro eby'okuwonyezebwamu, kale, laba, okukeŋŋentererwa.
20 Ai Mukama, tuukiriza obubi bwaffe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: kubanga twakwonoona.
21 Totutamwa olw'erinnya lyo; tovumisa ntebe ya kitiibwa kyo: jjukira, tomenya ndagaano gye walagaana naffe.
22 Mu birerya by'ab'amawanga mulimu ebiyinza okutonnyesa enkuba? oba eggulu liyinza okuleeta empandaggirize? si ggwe wuuyo, ai Mukama Katonda waffe? kyetunaavanga tukulindirira ggwe; kubanga ggwe wabikola ebyo byonna.