Chapter 25
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya eky'abantu bonna aba Yuda mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda; ogwo gwe gwali omwaka ogw'olubereberye ogwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni;
2 Yeremiya nnabbi kye yabuulira abantu bonna aba Yuda ne bonna abaali mu Yerusaalemi, ng'ayogera nti
3 Okuva ku mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogwa Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda ne leero, emyaka egyo amakumi abiri mu esatu, ekigambo kya Mukama kyanjijiranga ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera; naye mmwe temuwulirizanga.
4 Era Mukama yabatumiranga abaddu be bonna bannabbi, ng'agolokoka mu makya ng'abatuma; naye mmwe temuwulirizanga so temuteganga kutu kwammwe okuwulira;
5 ng'ayogera nti Mukomewo nno buli muntu ng'aleka ekkabo lye ebbi n'obubi obw'ebikolwa byammwe, mubeere mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bajjajjammwe, okuva edda n'okutuusa emirembe gyonna:
6 so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, so temunsunguwazanga n'omulimu ogw'emikono gyammwe; nange siribakola bubi.
7 Era naye temumpuliranga, bw'ayogera Mukama; munsunguwaze n'omulimu ogw'emikono gyammwe olw'okwerumya mwekka.
8 Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti Kubanga temuwulidde bigambo byange,
9 laba, ndituma ne nzirira ebika byonna eby'obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama, era nditumira Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni omuddu wange, ne mbaleeta okutabaala ensi eno n'abo abali omwo n'amawanga gano gonna ageetoolodde; era ndibazikiririza ddala ne mbafuula ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'amatongo ag'olubeerera.
10 Era nate ndibaggyako eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, okuvuga kw'olubengo n'okwaka kw'ettabaaza.
11 N'ensi eno yonna eriba matongo n'ekyewuunyo; n'amawanga gano galiweerereza kabaka w'e Sabulooni emyaka nsanvu.
12 Awo olulituuka emyaka ensanvu bwe girituukirira, ne ndyoka mbonereza kabaka w'e Babulooni n'eggwanga eryo, bw'ayogera Mukama, olw'obutali butuukirivu bwabwe, n'ensi ey'Abakaludaaya, era ndigifuula amatongo ennaku zonna.
13 Era ndireeta ku nsi eyo ebigambo byange byonna bye tunagyogerako, byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino Yeremiya kye yalagula eri amawanga gonna.
14 Kubanga amawanga mangi ne bakabaka abakulu abalibafuula abaddu, abo be balifuula abaddu: era ndibasasula ng'ebikolwa byabwe bwe biri era ng'omulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli.
15 Kubanga bw'ati Mukama Katonda wa Isiraeri bw'aŋŋamba nti Toola ekikompe eky'omwenge ogw'ekiruyi kino mu mukono gwange, oginyweseeko amawanga gonna gye nkutuma.
16 Kale balinywa ne batagatta ne balaluka olw'ekitala kye ndiweereza mu bo.
17 Awo ne ntoola ekikompe mu mukono gwa Mukama, ne nnywesa amawanga gonna Mukama gye yantuma:
18 Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda ne bakabaka baamu n'abakungu baamu, okubafuula amatongo n'ekyewuunyo n'okusoozebwanga n'ekikolimo; nga bwe kiri leero;
19 Falaawo kabaka w'e Misiri n'abaddu be n'abakungu be n'abantu be bonna;
20 n'abantu bonna abatabulwa, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ya Uzi, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ey'Abafirisuuti, ne Asukulooni ne Gaaza ne Ekuloni n'abafisseewo ku Asudodi;
21 Edomu ne Mowaabu n'abaana ba Amoni;
22 ne bakabaka bonna ab'e Ttuulo ne bakabaka bonna ab'e Sidoni ne bakabaka b'ekizinga ekiri emitala w'ennyanja;
23 Dedani ne Tema ne Buzi ne bonna abamwa oluge;
24 ne bakabaka bonna ab'e Buwalabu ne bakabaka bonna ab'abantu abatabulwa ababeera mu ddungu;
25 ne bakabaka bonna ab'e Zimuli, ne bakabaka bonna aba Eramu, ne bakabaka bonna aba Abameedi;
26 ne bakabaka bonna ab'obukiika obwa kkono ab'ewala n'ab'okumpi, buli muntu ne munne; n'ensi zonna eza bakabaka bwe benkana eziri ku nsi; ne kabaka w'e Sesaki alibaddirira okunywa.
27 Era olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Munywe mutamiire museseme mugwe so temuyimuka nate olw'ekitala kye ndiweereza mu mmwe.
28 Awo olulituuka bwe baligaana okutoola ekikompe mu mukono gwo, okunywa, kale olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Temuuleme kunywa.
29 Kubanga, laba, nsookera ku kibuga ekituumiddwako erinnya lyange okuleeta obubi, nammwe mwandiwonedde ddala okubonerezebwa? Temuliwona kubonerezebwa: kubanga ndiyita ekitala okujja ku abo bonna abatuula ku nsi, bw'ayogera Mukama w'eggye.
30 Kale olagulanga ku bo ebigambo ebyo byonna, obagambe nti Mukama aliwuluguma ng'ayima waggulu, alireeta eddoboozi lye ng'ayima mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera; aliwulugumira n'amaanyi ku kisibo kye; era alyogerera waggulu ng'abo abasamba ezabbibu eri abo bonna abatuula ku nsi.
31 Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y'ensi; kubanga Mukama alina empaka n'amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; ababi alibawaayo eri ekitala, bw'ayogera Mukama:
32 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, obubi bulifuluma okuva mu ggwanga okugenda mu ggwanga linnaalyo, ne kibuyaga mungi alikunsibwa aliva ku njegoyego z'ensi ez'enkomerero.
33 N'abo Mukama b'alitta baliva ku nkomerero y'ensi balituuka ku nkomerero yaayo: tebalikungubagirwa so tebalikuŋŋaanyizibwa so tebaliziikibwa; baliba busa ku maaso g'ensi.
34 Muwowoggane, mmwe abasumba, mukaabe; mwekulukuunye mu vvu, mmwe abakulu ab'omu kisibo: kubanga ennaku ez'okuttibwa kwammwe zituukidde ddala, nange ndibamenyaamenya, nammwe muligwa ng'ekibya ekisanyusa.
35 N'abasumba tebaliba na kkubo lya kuddukiramu, newakubadde abakulu ab'omu kisibo ery'okuwoneramu:
36 Eddoboozi ery'okwogerera waggulu okw'abasumba n'okuwowoggana kw'abakulu ab'omu kisibo kubanga Mukama azisa eddundiro lyabwe.
37 N'ebisibo ebyabangamu emirembe bisirisibwa olw'ekiruyi kya Mukama.
38 Avudde mu bwekwekero ng'empologoma: kubanga ensi yaabwe efuuse ekyewuunyo olw'obukambwe bw'ekitala ekijooga n'olw'ekiruyi kye.