Chapter 22
1 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Serengeta eri ennyumba ya kabaka wa Yuda,
2 oyogerere eyo ekigambo kino ogambe nti Wulira ekigambo kya Mukama, ai kabaka wa Yuda atuula ku ntebe ya Dawudi, ggwe n'abaddu bo n'abantu bo abayingirira mu miryango gino.
3 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mutuukirizenga emisango n'eby'ensonga, muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi: so temulyazaamaanyanga, temugiriranga kyejo mugenyi newakubadde atalina kitaawe newakubadde nnamwandu, so temuyiwanga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino.
4 Kubanga bwe mulikolera ddala ekigambo ekyo, kale muliyingirirwa mu miryango egy'ennyumba eno bassekabaka abalituula ku ntebe ya Dawudi, nga batambulira mu magaali era nga beebagala embalaasi, ye n'abaddu be n'abantu be.
5 Naye bwe mutalikkiriza kuwulira bigambo bino, neerayira nzekka, bw'ayogera Mukama, ng'ennyumba eno erifuuka matongo.
6 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama eby'ennyumba ya kabaka wa Yuda: nti Ggwe Gireyaadi gye ndi era mutwe gwa Lebanooni: era naye sirirema kukufuula ddungu n'ebibuga omutali bantu.
7 Era ndikutegekera abazikiriza, buli muntu ng'alina ebintu bye ebizikiriza: era balitema emivule gyo egisinga obulungi, ne bagisuula mu muliro.
8 Kale amawanga mangi galiyita awali ekibuga kino, era baligambagana buli muntu munne nti Mukama kiki ekyamukoza bw'atyo ekibuga kino ekikulu?
9 Awo ne baddamu nti Kubanga baaleka endagaano ya Mukama Katonda waabwe, ne basinza bakatonda abalala ne babaweereza.
10 Temukaabira maziga oyo eyafa, so temumukungubagira: naye mumukaabire nnyo nnyini amaziga oyo agenda; kubanga takyadda nate so taliraba nsi y'ewaabwe.
11 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebya Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya kitaawe okufuga, eyagenda okuva mu kifo kino, nti Takyakomangawo nate;
12 naye mu kifo gye baamutwala nga musibe, omwo mwalifiira, so takyalaba nsi eno nate.
13 Zimusanze oyo azimba ennyumba ye olw'obutali butuukirivu, n'ebisenge bye olw'okulya ensonga; alya emirimu gya munne awatali mpeera, so tamuwa bintu bye;
14 ayogera nti Neezimbira ennyumba engazi n'ebisenge ebinene, ne yeesaliramu ebituli; era ebikkibwako emivule, era esiigibwako ggerenge.
15 Olifuga kubanga oyagala okukiza banno emivule? kitaawo teyalyanga n'anywanga, n'akolanga eby'ensonga n'eby'obutuukirivu? kale n'aba bulungi.
16 Yasalanga omusango gw'omwavu n'eyeetaaga; kale n'aba bulungi. Si kwe kwali okummanya? bw'ayogera Mukama.
17 Naye amaaso go n'omutima gwo bigoberera kwegomba kwo kwokka, n'okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, n'okujooga, n'ekyejo okukigiranga.
18 Mukama kyava ayogera bw'ati ebya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nti Tebalimukungubagira nga boogera nti Woowe, muganda wange! oba nti Woowe, mwannyinaze! tebalimukungubagira nga boogera nti Woowe, mukama wange oba nti Woowe, ekitiibwa kye!
19 Aliziikibwa ng'endogoyi bw'eziikibwa, ewalulwa esuulibwa ebweru w'emiryango gya Yerusaalemi.
20 Linnya ku Lebanooni okaabe oyimuse eddoboozi lyo mu Basani okaabe ng'oyima ku Abalimu; kubanga baganzi bo bonna bazikiridde.
21 Nayogera naawe bwe wali ng'olaba omukisa; naye n'oyogera nti Siiwulire. Eyo ye yabanga empisa yo okuva mu buto bwo, obutagonderanga ddoboozi lyange.
22 Embuyaga ze ziririisa abasumba bo bonna; ne baganzi bo balitwalibwa okusibibwa: kale tolirema kukwatibwa nsonyi n'oswala olw'obubi bwo bwonna.
23 Ai ggwe abeera ku Lebanooni, akola ekisu kyo ku mivule, ng'oliba wa kusaasirwa nnyo, obulumi bwe bulikukwata, obubalagaze ng'obw'omukazi alumwa okuzaala!
24 Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, Koniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda newakubadde nga ye mpeta ey'akabonero ku mukono gwo ogwa ddyo, era nandikukwakuddeyo;
25 era ndikugabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwo ne mu mukono gw'abo b'otya, mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni, ne mu mukono gw'Abakaludaaya.
26 Era ndikugobera, ggwe ne nnyoko akuzaala, mu nsi endala gye mutaazaalirwa; era mulifiira eyo.
27 Naye mu nsi emmeeme yaabwe gye yeegomba okudda, eyo gye batalidda.
28 Omusajja ono Koniya lugyo lwatifu olunyoomebwa? ono kibya omutali kusanyusa? bagoberwa ki ye n'ezzadde lye, ne bagoberwa mu nsi gye batamanyi?
29 Ai ensi, ensi, ensi, wulira ekigambo kya Mukama.
30 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Muwandiike omusajja ono obutaba na baana, omusajja ataliraba mukisa mu biro bye: kubanga tewaliba muntu wa ku zzadde lye aliraba omukisa ng'atudde ku ntebe ya Dawudi, oba nga yeeongera nate okufuga mu Yuda.