Chapter 44
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya ku Bayudaaya bonna abaabeera mu nsi y'e Misiri, abaabeera e Migudooli ne Tapanesi ne Noofu mu nsi ey'e Pasuloosi, nga kyogera nti
2 Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mulabye obubi bwonna bwe naleeta ku Yerusaalemi ne ku kibuga byonna ebya Yuda; era, laba, leero matongo, so tewali muntu abeera omwo;
3 olw'obubi bwabwe bwe bakoze okunsunguwaza, kubanga baagenda okwoteza obubaane n'okuweereza bakatonda abalala be batamanyanga bo newaakubadde mmwe newakubadde bajjajjammwe.
4 Era naye nabatumira abaddu bange bonna bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, nga njogera nti Abaffe! temukola kigambo kino eky'omuzizo kye nkyawa.
5 Naye ne batawuliriza so tebaatega kutu okukyuka okuleka obubi bwabwe, obutayoterezanga bakatonda abalala obubaane.
6 Ekiruyi kyange n'obusungu bwange kyebwava bufukibwa ne bubuubuuka mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi; era bizise birekeddwa awo, nga bwe kiri leero.
7 Kale nno Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw’ati nti Kiki ekibakoza ekibi ekyenkana awo okwonoona emmeeme zammwe mmwe, okwemalirawo omusajja n'omukazi, omwana n'ayonka, wakati mu Yuda, obutabalekera abasigalawo;
8 kubanga munsunguwaza n'emirimu egy'emikono gyammwe, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane mu nsi y'e Misiri gye mwagenda okubeera; mulyoke mumalibwewo, era mubeere ekikolimo n'ekivume mu mawanga gonna ag'omu nsi?
9 Mwerabidde obubi bwa bajjajjammwe n'obubi bwa bassekabaka ba Yuda n'obubi bw'abakazi baabwe n'obubi bwammwe mmwe n'obubi bw'abakazi bammwe bwe baakolera mu nsi ya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi?
10 Tebannaba kumalwamu malala ne leero, so tebannatya, so tebatambulidde mu mateeka gange newakubadde mu biragiro byange bye nnateeka mu maaso gammwe ne mu maaso ga bajjajjammwe.
11 Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndikakasa amaaso gange okuboolekera olw'obubi, okuzikiriza Yuda yenna.
12 Era ndiddira ekitundu kya Yuda ekifisseewo abakakasizza amaaso gaabwe okuyingira mu nsi y'e Misiri okutuula omwo, era bonna balimalibwawo; mu nsi y'e Misiri mwe baligwira; balimalibwawo n'ekitala n'enjala; balifa, okuva ku muto okutuuka ku mukulu, n'ekitala n'enjala: era baliba kikolimo n'ekyewuunyo n'okukolima n'ekivume.
13 Kubanga ndibonereza abo abatuula mu nsi y'e Misiri nga bwe nnabonereza Yerusaalemi, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli:
14 ne ku kitundu kya Yuda ekifisseewo abambuse okugenda mu nsi y'e Misiri okubeera omwo ne kutabaako aliwona newakubadde alisigalawo, balyoke bakomewo mu nsi ya Yuda gye baayagala okudda okubeera: kubanga tewaliba abalikomawo wabula abo abaliwonya obuwonyi.
15 Awo abasajja bonna abaamanya ng'abakazi baabwe bootereza bakatonda abalala obubaane n'abakazi bonna abaali bayimiridde awo, ekibiina ekinene, abantu bonna abaali batuula mu nsi y'e Misiri e Pasuloosi, ne baddamu Yeremiya nga boogera nti
16 Ekigambo ky'otubuuliridde mu linnya lya Mukama tetuukuwulire.
17 Naye tetulirema kutuukiriza buli kigambo ekyakava mu kamwa kaffe, okwotereza kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bajjajjaffe, bassekabaka baffe n'abakungu baffe, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi: kubanga lwe twabanga n'eby'okulya ebingi, ne tuba bulungi ne tutalaba bubi.
18 Naye kasookedde tulekayo okwotereza kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, tubadde mu kwetaaga n'okumalibwawo ekitala n'enjala.
19 Era bwe twayoterezanga kakabaka w'eggulu omukazi obubaane ne tumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, twamufumbira emigaati okumusinza ne tumufukira ebiweebwayo eby'okunywa awatali babbaffe?
20 Awo Yeremiya n'agamba abantu bonna, abasajja n'abakazi, abantu bonna abaali bamuzzeemu bwe batyo, ng'ayogera nti
21 Obubaane bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mmwe ne bajjajjammwe, bassekabaka bammwe n'abakungu bammwe, n'abantu ab'omu nsi, Mukama teyabajjukira, so tekyajja mu mwoyo gwe?
22 n'okuyinza Mukama n'atayinza kuzibiikiriza nate olw'obubi obw'ebikolwa byammwe n'olw'emizizo gye mwakola; ensi yammwe kyevudde efuuka amatongo n'ekyewuunyo n'ekikolimo, nga tewali agituulamu, nga bwe kiri leero.
23 Kubanga mwayoteza obubaane, era kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lya Mukama so temutambulidde mu mateeka ge newakubadde mu biragiro bye newakubadde mu ebyo bye yategeeza; obubi buno kyebuvudde bubatuukako, nga bwe kiri leero.
24 Era nate Yeremiya n'agamba abantu bonna n'abakazi bonna nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri:
25 bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mmwe ne bakazi bammwe mwogedde n'obumwa era mukituukirizza n'emikono gyammwe, nga mwogera nti Tetulirema kutuukiriza bweyamo bwaffe bwe tweyama okwoterezanga kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukiranga ebiweebwayo eby'okunywa: kale munyweze obweyamo bwammwe era mutuukirize obweyamo bwammwe.
26 Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda ababeera mu nsi y'e Misiri: laba, ndayidde erinnya lyange ekkulu, bw'ayogera Mukama, ng'erinnya lyange teririyitibwa nate mu kamwa k'omuntu yenna owa Yuda mu nsi yonna ey'e Misiri, ng'ayogera nti Nga Mukama Katonda bw'ali omulamu.
27 Laba, mbalabirira olw'obubi so si lwa bulungi: n'abasajja bonna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri balimalibwayo ekitala n'enjala, okutuusa lwe baliggwaawo.
28 N'abo abaliwona ekitala balikomawo okuva mu nsi y'e Misiri ne bajja mu nsi ya Yuda, omuwendo gwabwe nga mutono; n'ekitundu kyonna ekya Yuda abagenze mu nsi y'e Misiri okubeera omwo balimanya oyo bw'ali ekigambo kye kye kiriyimirira, ekyange oba ekyabwe.
29 Era kano ke kanaaba akabonero gye muli, bw'ayogera Mukama, nga ndibabonereza mu kifo kino, mulyoke mumanye ng'ebigambo byange tebirirema kuyimirira gye muli olw'obubi:
30 bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndiwaayo Falaawo Kofera kabaka w'e Misiri mu mukono gw'abalabe be ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwe; nga bwe nnawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni omulabe we era eyanoonya obulamu bwe.