• 1 Ekyonoono ky'omubi kyogerera mu mutima gwange nti Tewali kutya Katonda mu maaso ge.
    2 Kubanga yeenyumiririza mu maaso ge ye, Ng'obutali butuukirivu bwe tebulirabika ne bukyayibwa.
    3 Ebigambo eby'akamwa ke bwe butali butuukirivu n'obulimba: Alese okuba n'amagezi n'okukola obulungi.
    4 Ateesa obutali butuukirivu ku kitanda kye; Yeeteeka mu kkubo eritali ddungi; Takyawa bubi.
    5 Ekisa kyo, ai Mukama, kiri mu ggulu Obwesige bwo bubuna ebbanga.
    6 Obutuukirivu bwo buli ng'ensozi za Katonda; Emisango gyo bwe buziba obunene: Ai Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo.
    7 Ekisa kyo, ai Katonda, nga kya muwendo mungi! Era abaana b'abantu baddukira wansi w'ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo.
    8 Banakkusibwanga ddala obugevvu obw'ennyumba yo. Era onoobanywesanga ku mugga ogw'essanyu lyo.
    9 Kubanga w'oli we wali oluzzi olw'obulamu: Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana.
    10 Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanya; N'obutuukirivu bwo eri abo abalina omutima ogw'amazima.
    11 Toganya kigere kya malala okunjijirako, Newakubadde omukono gw'omubi okungoba.
    12 Eri gye bagudde abakola obutali butuukirivu; Bameggeddwa wansi, so tebaayinzenga kuyimuka.