Zabbuli
Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
-
1 Mumutendereze Mukama. Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Mu kibiina eky'abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro.
2 Emirimu gya Mukama mikulu, Ginoonyezebwa abo bonna abagisanyukira.
3 Omulimu gwe gwa kitiibwa, gwa bukulu: N'obutuukirivu bwe bubeerera enurembe gyonna.
4 Ajjukizizza emirimu gye egy'ekitalo: Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira.
5 Awa emmere abo abamutya: Anajjukiranga endagaano ye emirembe gyonna.
6 Alaze abantu be obuyinza obw'emirimu gye, Ng'abawa obusika obw'amawanga.
7 Emirimu egy'emikono gye ge mazima n'omusango; Ebiragiro bye byonna binywera.
8 Biteekebwawo emirembe n'emirembe, Bikolebwawo mu mazima n'obutuukirivu.
9 Yawa abantu be okununulwa; Yalagira endagaano ye emirembe gyonna: Erinnya lye ttukuvu, lya kitiibwa.
10 Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; Balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo; Ettendo lye libeerera emirembe gyonna.