• 1 Yamba, Mukama; kubanga atya Katonda aggwaawo; Kubanga abakkiriza bakendeera mu baana b'abantu.
    2 Boogera ebitaliimu buli muntu ne munne: Boogera n'emimwa eginyumiriza n'emitima ebiri:
    3 Mukama alimalawo emimwa gyonna eginyumiriza, N'olulimi olwogera ebikulu:
    4 Aboogedde nti N'olulimi lwaffe tuliwangula; Emimwa gyaffe gye gyaffe: atufuga ye ani?
    5 Olw'okunyagibwa kw'abaavu, olw'okusinda kw'abanafu, Kaakano naagolokoka, Mukama bw'ayogera; Naamuteeka mu mirembe gwe basooza.
    6 Ebigambo bya Mukama bye bigambo ebirongoofu; Nga ffeeza egezebwa mu kyoto ku nsi, Erongoosebwa emirundi omusanvu.
    7 Onoobakuumanga, ai Mukama, Onoobawonyanga mu mirembe gino ennaku zonna.
    8 Ababi batambula ku njuyi zonna, Obugwagwa bwe bugulumizibwanga mu baana b'abantu.