• 1 Tosirika, ai Katonda gwe ntendereza;
    2 Kubanga akamwa k'ababi n'akamwa k'obulimba bakanjasamidde: Boogedde nange n'olulimi olulimba.
    3 Era banneetooloola n'ebigambo eby'okukyawa, Ne balwana nange awatali nsonga.
    4 Olw'okwagala kwange bafuuse balabe bange: Naye nze nsaba.
    5 Era bansasudde obubi olw'obulungi, N'okukyawa olw'okwagala kwange.
    6 Omusseeko omuntu omubi: Omulabe ayimirirenga ku mukono gwe ogwa ddyo.
    7 Bw'asalirwa omusango, afulume nga gumusinze; Era okusaba kwe kufuuke ekibi.
    8 Ennaku ze zibe ntono; Omulala alye obukulu bwe.
    9 Abaana be babe nga tebalina kitaabwe, Ne mukazi we nnamwandu.
    10 Abaana be babe mmomboze, basabirizenga; Banoonyenga emmere mu bifo byabwe ebyazika.
    11 Omunyazi atege byonna by'alina; B'atamanyi banyageenyage emirimu gye.
    12 Anaamwongerako ekisa amubule; Anaasaasira abaana be nga tebalina kitaabwe naye abule.
    13 Ezzadde lye lizikirizibwe; Mu mirembe egirijja amannya gaabwe gasaangulibwe.
    14 Obutali butuukirivu bwa bajjajjaabe bujjukirwe eri Mukama: So ekibi kya nnyina kireme okusangulibwa.
    15 Bibeerenga mu maaso ga Mukama ennaku zonna, Azikirize okujjukirwa kwabwe ku nsi.
    16 Kubanga teyajjukira kusaasira, Naye n'ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga, N'oyo eyalina omutima ogumenyese, okubatta.
    17 Weewaawo, yayagala okukolima, ne kutuuka gy'ali; So teyasanyukira kusaba mukisa, ne gumuba wala.
    18 Era yayambala okukolima ng'ekyambalo kye, Ne kuyingira mu nda ye ng'amazzi, Era ng'amafuta mu magumba ge.
    19 Kubenga gy'ali ng'ekyambalo ky'ayambala, Era kubenga ng'olukoba lwe yeesiba ennaku zonna.
    20 Eyo ye mpeera ey'abalabe bange eva eri Mukama, N'abo aboogera obubi ku mmeeme yange.
    21 Naye olongoose ebyange, ai Katonda Mukama, olw'erinnya lyo: Kubanga okusaasira kwo kulungi, omponye.
    22 Kubanga nze ndi mwavu, nneetaga, N'omutima gwange gufumitiddwa munda yange.
    23 ŋŋendedde ddala ng'ekisiikirize bwe kiggwaawo: Nkuunta ng'enzige.
    24 Amaviivi gange ganafuwadde olw'okusiiba; N'omubiri gwange guweebuuse obutagejja.
    25 Era nfuuse ekivume gye bali: Bwe bandaba, banyeenya omutwe gwabwe.
    26 Onnyambe, ai Mukama Katonda wange; Nkwegayiridde ondokole ng'okusaasira kwo bwe kuli.
    27 Balyoke bategeere ng'ogwo gwe mukono gwo: Nga ggwe, Mukama, wakikola.
    28 Bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa: Bwe baligolokoka, balikwatibwa ensonyi, naye omuddu wo alisanyuka.
    29 Abalabe bange bambale okuswazibwa, Era beebikke ensonyi zaabwe ng'ekikunta.
    30 Neebazanga nnyo Mukama n'akamwa kange; Weewaawo, naamutenderezanga mu kibiina.
    31 Kubanga anaayimiriranga ku mukono ogwa ddyo ogw'omwavu, Okumulokola eri abo abasalira omusango emmeeme ye.