• 1 Ai Katonda, tosirika nate: Toleka kwogera, so tobeererawo, ai Katonda.
    2 Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana: N'abo abakukyawa bayimusizza omutwe.
    3 Basala enkwe ku bantu bo, Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke.
    4 Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga; Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate.
    5 Kubanga bateesezza wamu n'omwoyo gumu; Balagaana endagaano ku ggwe:
    6 Eweema za Edomu n'ez'Abaisimaeri; Mowaabu, n'Abakagale;
    7 Gebali, ne Amoni, ne Amaleki; Firisutiya awamu n'abo abatuula mu Ttuulo:
    8 Era n'Obwasuli bwegasse nabo; Bayambye abaana ba Lutti. (Seera)
    9 Obakole nga bwe wakola Midiyaani; nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni;
    10 Obakole nga bwe wakola Midiyaani; nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni;
    11 Abakungu baabwe obafaananye nga Olebu ne Zeebu; Weewaawo, abalangira baabwe bonna nga Zeba ne Zalumunna:
    12 Abaayogera nti Twetwalire fekka Ennyumba za Katonda tuzirye.
    13 Ai Katonda wange, obafuule ng'enfuufu ey'akazimu; Ng'ebisasiro empewo bye zitwala.
    14 Ng'omuliro ogwokya ekibira, Era ng'ennimi z'omuliro ezookya ensozi;
    15 Obayigganye bw'otyo ne kibuyaga wo, Era obatiise n'empewo zo.
    16 Jjuza amaaso gaabwe okweraliikirira; Banoonyenga erinnya lyo, ai Mukama.
    17 Bakwatibwenga ensonyi, batyenga ennaku zonna; Weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga:
    18 Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA, Oli waggulu nnyo ng'ofuga ensi yonna.