• 1 Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu: Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima.
    2 Mumwebaze Mukama n'ennanga: Muyimbe okumutendereza n'ennanga ey'engoye kkumi.
    3 Mumuyimbire oluyimba oluggya; Mukube ennanga n'amagezi n'eddoboozi ddene.
    4 Kubanga ekigambo kya Mukama kigolokofu; N'omulimu gwe gwonna (agukola) mu bwesigwa.
    5 Ayagala obutuukirivu n'amazima: Ensi ejjudde ekisa kya Mukama.
    6 Mu kigambo kya Mukama eggulu lyakolebwa; N'eggye lyamu lyonna (lyakolebwa) n'omukka ogw'akamwake.
    7 Amazzi ag'omu nnyanja agakuŋŋaanya ng'entuumo: Atereka amadubi mu mawanika.
    8 Ensi zonna zityenga Mukama: Bonna abali mu nsi zonna bamukankanirenga.
    9 Kubanga yayogera ne kikolebwa; Yalagira ne kinywera.
    10 Mukama aggyawo okuteesa kw'amawanga: Adibya ebirowoozo by'abantu.
    11 Okuteesa kwa Mukama kunywera ennaku zonna, N'ebirowoozo by'omutima gwe okutuusa emirembe gyonna.
    12 Eggwanga eririna Mukama okuba Katonda waalyo liweereddwa omukisa; Abantu be yalonda okuba obusika bwe ye.
    13 Mukama alengera ng'ayima mu ggulu; Atunuulira abaana b'abantu bonna;
    14 Ng'ayima mu kifo eky'ekisulo kye alaba Ku abo abali mu nsi bonna;
    15 Abumba emitima gyabwe bonna, Alowooza ebikolwa byabwe byonna.
    16 Tewali kabaka alokoka olw'eggye okuba eringi: Omuzira tawonyezebwa maanyi mangi.
    17 Embalaasi kye kintu ekitaliimu ku bulokozi: So teewonyenga muntu olw'amaanyi gaayo amangi.
    18 Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya, Ku abo abasuubira mu kusaasira kwe;
    19 Okuwonyanga emmeeme yaabwe okufa, N'okubakuumanga abalamu mu njala.
    20 Emmeeme yaffe erindiridde Mukama: Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe.
    21 Kubanga omutima gwaffe gunaasanyukira oyo, Kubanga twesize erinnya lye ettukuvu.
    22 Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerenga ku ffe, Nga ffe bwe tusuubira mu ggwe.