• 1 1 Mumutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama, Mumutendereze, mmwe abaddu ba Mukama:
    2 Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Mukama, Mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe.
    3 Mumutendereze Mukama; kubanga Mukama mulungi: Muyimbe okutendereza erinnya lye; kubanga lya ssanyu.
    4 Kubanga Mukama yeeroboza Yakobo okuba owuwe, Ne Isiraeri okuba ow'envuma ye yekka.
    5 Kubanga mmanyi nga Mukama mukulu, Era nga Mukama waffe asinga bakatonda bonna.
    6 Buli ky'ayagadde Mukama akikoze, Mu ggulu ne mu nsi, mu nnyanja ne mu by'obuziba byonna.
    7 Anyoosa omukka okuva ku nkomerero z'ensi; Aleetera enjota enkuba; Afulumya empewo mu mawanika ge.
    8 Eyakuba ababereberye ab'e Misiri, Ab'abantu era n'ab'ensolo.
    9 Yaweereza obubonero n'eby'amagero wakati mu ggwe, ggwe Misiri, Ku Falaawo, ne ku baddu be bonna.
    10 Eyakuba amawanga amangi, N'atta bakabaka ab'amaanyi;
    11 Sikoni kabaka w'Abamoli, Ne Ogi kabaka w'e Basani, N'amatwale gonna aga Kanani:
    12 N'agaba ensi yaabwe okuba obusika, Obusika eri Isiraeri abantu be.
    13 Erinnya lyo, ai Mukama, libeerera ennaku zonna; N'ekijjukizo kyo, ai Mukama, okutuusa emirembe gyonna.
    14 Kubanga Mukama alisalira omusango abantu be, Era alyejjusa mu bigambo eby'abaddu be.
    15 Ebifaananyi eby'amawanga ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu.
    16 Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba;
    17 Birina amatu, naye tebiwulira; So tewali mukka mu bumwa bwabyo.
    18 Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga.
    19 Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mumwebaze Mukama: Mmwe ennyumba ya Alooni, mumwebaze Mukama:
    20 Mmwe ennyumba ya Leevi, mumwebaze Mukama: Mmwe abatya Mukama, mumwebaze Mukama.
    21 Mukama yeebazibwe okuva mu Sayuuni, Atuula mu Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama.