• 1 Mujje, tuyimbire Mukama: Tuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ejjinja ery'obulokozi bwaffe.
    2 Tujje mu maaso ge n'okwebaza, Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ne zabbuli.
    3 Kubanga Mukama ye Katonda omukulu, Era Kabaka omukulu asinga bakatonda bonna.
    4 Enkonko z'ensi ziri mu mukono gwe; N'entikko z'ensozi nazo zizze.
    5 Ennyanja yiye, era yagikola; N'emikono gye gye gyabumba olukalu.
    6 Mujje, tusinze, tuvuuname; Tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe:
    7 Kubanga ye Katonda waffe, Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez'omu mukono gwe. Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye,
    8 Temukakanyaza mitima gyammwe, nga e Meriba, Nga ku lunaku olw'e Masa mu ddungu:
    9 Bajjajja bammwe bwe bankema, Ne bangeza, ne balaba omulimu gwange.
    10 Emyaka amakumi ana nanyiikaalira ab'emirembe giri, Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, So tebamanya makubo gange:
    11 Kyennava ndayira mu busungu bwange, Nga tebaliyingira mu kiwummulo kyange.