• 1 Laba bwe kuli okulungi, bwe kusanyusa, Ab'oluganda okutuula awamu nga batabaganye!
    2 Kuliŋŋanga amafuta ag'omuwendo omungi agali ku mutwe, Agaakulukutira mu kirevu, Mu kirevu kya Alooni; Agaaserengetera ku lukugiro lw'ebyambalo bye;
    3 Ng'omusulo gwa Kerumooni, Ogukkira ku nsozi za Sayuuni: Kubanga eyo Mukama gye yalagirira omukisa, Bwe bulamu obw'emirembe n'emirembe.