Zabbuli
Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
-
1 Balina omukisa abo abatuukirira mu kkubo, Abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2 Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, Abamunoonya n'omutima gwonna.
3 Weewaawo, abo tebakola ebitali bya butuukirivu; Batambulira mu makubo ge.
4 Watukuutira ebiragiro byo, Tubikwatenga nnyo.
5 Singa amakubo gange ganywedde Okukwata amateeka go!
6 Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi, Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna.
7 Naakwebazanga n'omutima ogutalina bukuusa, Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga.
8 Naakwatanga amateeka go: Nkwegayiridde, tondekera ddala.
BEESI
9 Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye? Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri.
10 N'omutima gwange gwonna nkunoonyezza: Nkwegayiridde, nneme okukyama okuleka bye walagira.
11 Nterese ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go.
12 Weebazibwa, ai Mukama: Onjigirizenga amateeka go.
13 N'emimwa gyange mbuulidde Emisango gyonna egy'akamwako.
14 Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo bye wategeeza, Nga asanyukira obugagga bwonna.
15 Naafumiitirizanga ebiragiro byo. Era naalowoozanga amakubo go.
16 Naasanyukiranga amateeka go: Seerabirenga kigambo kyo.
GIMERI
17 Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi, mbeerenga omulamu; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo.
18 Onzibule amaaso gange, ndabe Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go.
19 Nze ndi mutambuze mu nsi: Tonkisa bye walagira.
20 Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna.
21 Onenyezza ab'amalala abakolimirwa, Abakyama okuleka bye walagira.
22 Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa; Kubanga neekuumye bye wategeeza.
23 Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi: Naye omuddu wo nafumiitiriza amateeka go.
24 Era bye wategeeza bye nsanyukira, Era ebyo be bantu be nteesa nabo.
DALESI
25 Emmeeme yange yeegasse n'enfuufu: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kyo bwe kiri.
26 Nayatula amakubo gange, naawe n'onziramu: Onjigirize amateeka go.
27 Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo: Ne ndyoka nfumutiriza emirimu gyo egy'ekitalo.
28 Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala: Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri.
29 Onziyeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa.
30 Neerobozezza ekkubo ery'obwesigwa: Emisango ngitadde mu maaso gange.
31 Neegatta n'ebyo bye wategeeza: Ai Mukama, tonkwasa nsonyi.
HE
32 Naddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira, Bw'oligaziya omutima gwange.
33 Onjigirize, ai Mukama, ekkubo ery'amateeka go; Nange naalyekuumanga okutuusa enkomerero.
34 Ompe amagezi, nange neekuumanga amateeka go; Weewaawo, naagakwatanga n'omutima gwange gwonna.
35 Ompise mu kkubo ly'ebyo bye walagira: Kubanga mu eryo mwe nsanyukira.
36 Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, So si eri kwegomba.
37 Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go.
38 Onyweze ekigambo kyo eri omuddu wo, Ky'eky'okutyanga ggwe.
39 Ompunjulire ekivume kye ntya; Kubanga emisango gyo mirungi.
40 Laba, neegombanga ebiragiro byo: Onzuukirize mu butuukirivu bwo.
VAWU
41 Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, ai Mukama, Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
42 Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma; Kubanga neesiga ekigambo kyo.
43 So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga naasuubiranga emisango gyo.
44 Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna Emirembe n'emirembe.
45 Era naatambulanga nga neeyabya; Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo.
46 Era naayogeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka, Ne sikwatibwa nsonyi.
47 Era naasanyukiranga ebyo bye walagira, Bye nnaayagalanga:
48 Era naayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga: Era naafumiitirizanga mateeka go.
ZAYINI
49 Ojjukire ekigambo eri omuddu wo, Kubanga wansuubiza.
50 Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza.
51 Ab'amalala bansekeredde nnyo: Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go.
52 Njijukidde emisango gyo egy'edda, ai Mukama, Ne nneesanyusa.
53 Obusungu obubuubuuka bunkutte, Olw'ababi abaleka amateeka go.
54 Amateeka go ge nnyimbirako Mu nnyumba ey'okutambula kwange.
55 Najjukiranga erinnya lyo ekiro, ai Mukama, Era nakwatanga amateeka go.
56 Ekigambo kino kyange, Okukuumanga ebiragiro byo.
KEESI
57 Mukama gwe mugabo gwange: Nayogera nga naakwatanga ebigambo byo.
58 Nasaba ekisa kyo n'omutima gwange gwonna: Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri.
59 Nalowooza amakubo gange, Ne nkyusa ebigere byange eri ebyo bye wategeeza.
60 Nayanguwa ne sirwawo, Okukwata ebyo bye walagira.
61 Emigwa egy'ababi gimbisse; Naye seerabidde mateeka go.
62 Mu ttumbi naagolokokanga okukwebaza Olw'emisango gyo egy'ensonga.
63 Nze ndi munne w'abo bonna abakutya, N'abo abakwata ebiragiro byo.
64 Ai Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo: Onjigirize amateeka go.
TEESI
65 Okoledde ebirungi omuddu wo, Ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
66 Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera; Kubanga nakkirizanga ebyo bye walagira.
67 Nga sinnabonyaabonyezebwa, nakyama; Naye kaakano nkwata ekigambo kyo.
68 Oli mulungi, era okola ebirungi; Onjigirizenga amateeka go.
69 Ab'amalala banjiiyirizzaako eky'obulimba: N'omutima gwange gwonna neekuumanga ebiragiro byo.
70 Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu; Naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Kwangasa okubonyaabonyezebwa; Ndyoke njige amateeka go.
72 Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi.
YODI
73 Engalo zo ze zankola, ze zammumba: Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira.
74 Abakutya banandabanga ne basanyuka; Kubanga naasuubiranga elugambo kyo.
75 Mmanyi, ai Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga, Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa.
76 Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse, Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo.
77 Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu: Kubanga amateeka go ge gansanyusa.
78 Ab'amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga. Naye naafumiitirizanga ebiragiro byo.
79 Abakutya bankyukire, Era balitegeera bye wategeeza.
80 Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go; Nnemenga okukwatibwa ensonyi.
KAFU
81 Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo: Naye nsuubira ekigambo kyo.
82 Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo, Nga njogera nti Olinsanyusa ddi?
83 Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka; Naye seerabira mateeka go.
84 Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka? Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya?
85 Ab'amalala bansimidde obunnya Abatagoberera mateeka go.
86 Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe.
87 Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo.
88 Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza.
LAMEDI
89 Emirembe gyonna, ai Mukama, Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu.
90 Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna: Wanyweza ensi, n'ebeererawo.
91 Bikyaliwo leero nga bwe walagira; Kubanga ebintu byonna baddu bo.
92 Singa amateeka go si ge gansanyusa, Nandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa.
93 Seerabirenga biragiro byo ennaku zonna; Kubanga wanzuukiza n'ebyo.
94 Nze ndi wuwo, ondokole; Kubanga naanoonyanga ebiragiro byo.
95 Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze naalowoozanga bye wategeeza.
96 Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma; Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo.
MEMU
97 Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.
98 Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange; Kubanga bali wamu nange ennaku zonna.
99 Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna; Kubanga bye wategeeza bye ndowooza.
100 Ntegeera okukira abakadde, Kubanga neekuumanga ebiragiro byo.
101 Naaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo.
102 Seekooloobyanga kuleka misango gyo; Kubanga ggwe wanjigirizanga.
103 Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange! Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange!
104 Ebiragiro byo bye binfunya okutegeera: Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba.
NUUNI
105 Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, N'omusana eri ekkubo lyange.
106 Nalayira, era nkikakasizza kino, Nga naakwatanga emisango gyo egy'ensonga.
107 Mbonyaabonyezebwa nnyo; Onzuukize, ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
108 Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, ai Mukama, nga tekaawalirizibwa, Era onjigirizenga emisango gyo.
109 Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna; Naye seerabira mateeka go.
110 Ababi bantegedde omutego; Naye sikyamanga kuleka biragiro byo.
111 Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggavaawo; Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange.
112 Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go, Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero.
SAMEKI
113 Nkyaye abo abalina emyoyo egy'obulimba; Naye amateeka go ge njagala.
114 Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange: Nsuubira ekigambo kyo.
115 Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b'obubi; Ndyoke neekuumeaga Katonda wange bye yalagira.
116 Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu; Nneme okukwatibwanga ensonyi olw'essuubi lyange.
117 Ggwe ompanirire, nange naabeerangawo mirembe, Era neegenderezanga amateeka go ennaku zonna.
118 Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go; Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba.
119 Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere: Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza.
120 Omubiri gwange gukankana olw'okukutya; Era ntya emisango gyo.
AYINI
121 Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukuivu: Tondekera abo abanjooga.
122 Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi: Ab'amalala baleme okunjooganga.
123 Amaaso gange ganzibye olw'obulokozi bwo, N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu.
124 Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli, Era onjigirizenga amateeka go.
125 Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera; Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza.
126 Obudde butuuse Mukama okukola emirimu; Kubanga badibiza amateeka go.
127 Kyenvudde njagala ebyo bye walagira Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi.
128 Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga; Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba.
PE
129 Bye wategeeza bya kitalo: Emmeeme yange kyeva ebyekuuma.
130 Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi.
131 Nayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma; Kubanga nayaayaanira ebyo bye walagira.
132 Onkyukire, onsaasire, Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo.
133 Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga.
134 Onnunule nneme okujoogebwanga abantu: Bwe ntyo bwe nnaakwataaga ebiragiro byo.
135 Oyakize amaaso go omuddu wo; Era onjigirizenga amateeka go.
136 Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amazzi, Kubanga tebakwata mateeka go.
TIZADDE
137 Oli mutuukirivu, ai Mukama, N'emisango gyo gya nsonga.
138 Walagira bye wategeeza mu butuukirivu Ne mu bwesigwa ddala ddala.
139 Obuggya bwange bunzikirizza, Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo.
140 Ekigambo kyo kirongoofu nnyo; Omuddu wo kyava akyagala.
141 Nze ndi muto, nnyoomebwa: Naye seerabira biragiro byo.
142 Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna, N'amateeka go ge mazima.
143 Ennaku n'okulumwa bindabye: Naye bye walagira bye binsanyusa.
144 Bye wategeeza bya butuukirivu emirembe gyonna: Ompe okutegeera, nange naabeeranga mulamu.
KOOFU
145 Nkoowodde n'omutima gwange gwonna; ompitabe, ai Mukama: Naakuumanga amateeka go.
146 Nkukoowodde; ondokole, Nange naakwatanga ebyo bye wategeeza.
147 Nakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola: Nasuubira ebigambo byo.
148 Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro, Nfumiitirize ekigambo kyo.
149 Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, ai Mukama, ng'emisango gyo bwe giri:
150 Basembera abagoberera obubi; Bali wala amateeka go.
151 Ggwe oli kumpi, ai Mukama; Ne byonna bye walagira ge mazima.
152 Edda n'edda namanyanga olw'ebyo bye wategeeza, Nga wabinyweza emirembe gyonna.
REESI
153 Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye; Kubanga seerabira mateeka go.
154 Ompolereze ensonga yange, onnunule: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri.
155 Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go.
156 Okusaasira kwo okulungi kungi, ai Mukama: Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri.
157 Abanjigganya n'abankyawa bangi: Naye seekooloobyanga kuleka bye wategeeza.
158 Nalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo.
159 Olowooze bwe njagala ebiragiro byo: Onzuukize, ai Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri.
160 Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima; N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna.
SINI
161 Abalangira banjigganyizza awatali nsonga; Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo.
162 Nsanyukira ekigambo kyo, Ng'alaba omunyago omungi.
163 Nkyaye obulimba, mbutamwa; Naye amateeka go ge njagala.
164 Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza; Olw'emisango gyo egy'ensonga.
165 Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; So tebaliiko kibeesittaza.
166 Nsuubidde obulokozi bwo, ai Mukama, Era nkoze bye walagira.
167 Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza; Era mbyagala kitalo.
168 Naakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go.
TAWU
169 Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, ai Mukama: Ompe okutegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri.
170 Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go: Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri.
171 Emimwa gyange gyogere ettendo; Kubanga onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo; Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu.
173 Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba; Kubanga nneerobozza ebiragiro byo.
174 Njaayaanidde obulokozi bwo, ai Mukama; Era amateeka go ge gansanyusa.
175 Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga; N'emisango gyo ginnyambenga.
176 Nakyama ng'endiga ebuze; noonya omuddu wo; Kubanga seerabira bye walagira.