• 1 Mukama gwe musana gwange n'obulokozi bwange; gwe nnaatyanga ye ani? Mukama ge maanyi ag'obulamu bwange; anankankanyanga ye ani?
    2 Abakola obubi bwe bannumba okulya omubiri gwange, Be balabe bange era abankyawa, ne beesittala ne bagwa.
    3 Newakubadde ng'eggye lisiisidde okunnwanyisa, Omutima gwange teguutyenga: Newakubadde ng'entalo zimbaddeko, Era ne mu ezo naagumanga omwoyo.
    4 Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okubuuzanga mu yeekaalu ye.
    5 Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye: Awakwekerwa mu weema ye we alinkisiza; Alinnyimusa ku lwazi.
    6 Ne kaakano omutwe gwange gunaayimusibwa ku balabe bange abanneetoolodde; Era naawaayo mu weema ye ssaddaaka ez'okusanyuka; Naayimbanga, weewaawo, naayimba okutendereza Mukama.
    7 Wulira, ai Mukama, bwe nkaaba n'eddoboozi lyange: Era onsaasire, onziremu.
    8 Bwe wagamba nti Munoonye amaaso gange; omutima gwange gwakugamba nti Amaaso go, Mukama, naaganoonyanga.
    9 Tonkisa amaaso go; Togoba muddu wo mu busungu: Ggwe wabeeranga omubeezi wange; Tonsuula, so tondeka, ai Katonda ow'obulokozi bwange.
    10 Kubanga kitange ne mmange bandese, Naye Mukama ananjijanjabanga.
    11 Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu luwenda olulabika, Olw'abalabe bange.
    12 Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala: Kubanga abawaayiriza bangolokokeddeko, n'abo abassa omukka ogw'obukambwe.
    13 Nandizirise, singa sakkiriza okulaba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu.
    14 Lindirira Mukama: Ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; Weewaawo, lindirira Mukama.