• 1 Mu kunakuwala kwange nakoowoola Mukama, N'ampitaba.
    2 Omponye emmeeme yange, ai Mukama, eri emimwa egy'obulimba, N'eri olulimi olw'obukuusakuusa.
    3 Oliweebwa ki, olyongerwako ki nate, Ggwe olulimi olw'obukuusakuusa?
    4 Obusaale obw'obwogi obw'abazira, Era n'amanda ag'entaseesa.
    5 Zinsanze, kubanga ntambulira mu Meseki Kubanga ntuula mu weema za Kedali!
    6 Emmeeme yange yaakamaze ennaku nnyingi okutuula Awamu n'oyo akyawa emirembe.
    7 Nze njagala emirembe: Naye bwe njogera, baagala okulwana.