• 1 Nkaabira Mukama n'eddoboozi lyange; N'eddoboozi lyange neegayirira Mukama.
    2 Nfuka mu maaso ge ebinneemulugunyisizza; Ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza;
    3 Omwoyo gwange bwe gwazirika munda yange, ggwe wamanya ekkubo lyange. Mu kkubo lye ntambuliramu bankwekeddemu omutego.
    4 Mutunule ku mukono gwange ogwa ddyo, mulabe; kubanga tewali muntu ammanyi: Ekiddukiro kimbuze; tewali muntu ayagala emmeeme yange:
    5 Nakukoowoola ggwe, ai Mukama; Nayogera nti Ggwe oli kiddukiro kyange, Omugabo gwange mu nsi ey'abalamu.
    6 Owulire okukaaba kwange; kubanga njeezebwa nnyo: Omponye eri abo abanjigganya; kubanga bansinga amaanyi.
    7 Oggyeemu emmeeme yange mu kkomera, neebazenga erinnya lyo: Abatuukirivu balinneetooloola; Kubanga olinkolera eby'ekisa ekingi.