• 1 Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu.
    2 Mu kamwa k'abawere n'abayonka wanyweza amaanyi, Olw'abalabe bo, Olyoke osirise omulabe n'oyo awalana eggwanga.
    3 Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw'engalo zo, Omwezi n'emmunyeenye, bye walagira;
    4 Omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira?
    5 Kubanga wamukola okubulako akatono okuba nga Katonda, Era omussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo.
    6 Wamufuza emirimu egy'emikono Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye:
    7 Endiga zonna n'ente, Era n'ensolo ez'omu nsiko;
    8 Ennyonyi eza waggulu, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, Buli kintu ekiyita mu makubo ag'ennyanja.
    9 Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna!