• 1 Muleetere Mukama eddoboozi ery'essaayu, mmwe ensi zonna.
    2 Mumuweereze Mukama n'essanyu: Mujje mu maaso ge n'okuyimba.
    3 Mumanye nga Mukama ye Katonda: Oyo ye yatutonda, naffe tuli babe; Tuli bantu be, era endiga ez'omu ddundiro lye.
    4 Muyingire mu miryango gye n'okwebaza, Ne mu mpya ze n'okutendereza. Mumwebaze, mukuze erinnya lye.
    5 Kubanga Mukama mulungi; okusaasira kwe kwa lubeerera; N'obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.